“Tegeeza abaana ba Isirayiri nti: ‘Bino bye biragiro eri buli muntu anaasobyanga ku mateeka ga Mukama nga tagenderedde, n’akola ekintu kyonna Mukama kye yalagira obutakikolanga.
Sseddume eyo anaagireetanga ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, mu maaso ga Mukama; anaagikwatanga omutwe gwayo n’agittira awo mu maaso ga Mukama.
Awo kabona anaddiranga ku musaayi, n’agusiiga ku mayembe ag’oku kyoto okwoterezebwa obubaane obw’akawoowo, ekiri mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu mu maaso ga Mukama. Omusaayi gwa sseddume ogunaasigalangawo gwonna, anaaguyiwanga ku ntobo y’ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa ekiri ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu.
“ ‘Ekibiina kyonna eky’Abayisirayiri bwe kinaayonoonanga nga tekigenderedde, ne kikola ekimu ku ebyo Mukama bye yalagira mu mateeka ge obutabikolanga, ekibiina ne bwe kinaabanga tekitegedde nti kisobezza, banaabanga bazzizza omusango.
Ekibi ekikoleddwa bwe kinaategeerekekanga, ekibiina kinaaleetanga sseddume y’ente entoototo mu maaso ga Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, nga ky’ekiweebwayo olw’ekibi.
Anaddiranga ku musaayi n’agusiiga ku mayembe ag’oku kyoto ekiri mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu mu maaso ga Mukama. Omusaayi ogunaasigalangawo gwonna anaagufukanga ku ntobo y’ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa ekiri ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu.
n’akola ku sseddume eno nga bwe yakola ku sseddume ey’ekiweebwayo olw’ekibi. Bw’atyo kabona anaatangiririranga abantu bonna mu kibiina, era ne basonyiyibwa.
Anaafulumyanga sseddume eno ebweru w’olusiisira n’agyokya nga bwe yayokya sseddume eri eyasooka. Kino kye kiweebwayo olw’ekibi ku lw’ekibiina ky’abantu bonna.
Amasavu gaayo anaagaggyangamu nga ag’omu biweebwayo olw’emirembe bwe gaggyibwamu, era kabona anaagookeranga ku kyoto ku biweebwayo eri Mukama ebyokeddwa mu muliro. Bw’atyo kabona anaatangiririranga omuntu oyo olw’ekibi kye, era omuntu oyo anaasonyiyibwanga.