Era buli kiweebwayo eky’emmere ey’empeke ekinaafumbibwanga mu oveni n’ekyo kyonna ekinaateekerwateekerwanga ku fulampeni oba ku lukalango, kabona oyo akiwaddeyo y’anaakitwalanga.
Era na buli kiweebwayo eky’empeke ekya buli ngeri, nga kitabuddwa mu mafuta ag’omuzeeyituuni oba nga kikalu kyereere, batabani ba Alooni be banaakitwalanga nga bakigabana kyenkanyi buli omu.
Era omuntu yenna bw’anaakwatanga ku kintu ekitali kirongoofu, obanga kivudde mu muntu oba mu nsolo, oba ekintu kyonna ekikyayibwa ekitali kirongoofu, ate n’alya ku nnyama y’ekiweebwayo eri Mukama olw’emirembe, omuntu oyo anaaboolebwanga, nga takyabalirwa mu bantu ba Mukama.’ ”
Kubanga buli muntu anaalyanga ku masavu ag’ensolo eneevangako ekiweebwayo eri Mukama ekyokeddwa mu muliro, anaaboolebwanga, nga takyabalirwa mu bantu ba Mukama.
Anaakisitulanga n’engalo ze n’akireeta eri Mukama Katonda nga kye kiweebwayo kye ekyokeddwa mu muliro. Amasavu n’ekifuba nabyo anaabireetanga, n’awuubawuuba ekifuba mu maaso ga Mukama, ng’ekyo kye kiweebwayo ekiwuubibwa.
Ku kiweebwayo olw’emirembe eky’abaana ba Isirayiri, nzigyeko ekifuba ekiwuubibwawuubibwa n’ekisambi, ne mbiwa kabona Alooni ne batabani be, nga gwe gunaabanga omugabo gwabwe ogunaavanga mu baana ba Isirayiri emirembe gyonna.”
Guno gwe mugabo nga guva ku biweebwayo eri Mukama Katonda ebyokeddwa mu muliro, ogwagerekerwa Alooni ne batabani be ku lunaku lwe baaleetebwa eri Mukama okumuweereza nga bakabona be.
Mukama Katonda bye yawa Musa ku lusozi Sinaayi ku lunaku lwe yalagirirako abaana ba Isirayiri okuleeta ebiweebwayo byabwe eri Mukama Katonda, mu ddungu lya Sinaayi.