|
| 1 |
|
| Kino Omukama Katonda kye yandaga: Yandaga ekibbo ekijjudde ebibala eby'omu kyeya; |
|
| 2 |
|
| n'ambuuza nti: “Amosi, olaba ki?” Ne nziramu nti: “Ekibbo ekijjudde ebibala eby'ekyeya.” Omukama Katonda n'aŋŋamba nti: “Akadde katuuse olw'abantu bange Yisirayeli, sijja kwongera nate kubaleka bulesi.” |
|
| 3 |
|
| Omukama Katonda agamba nti: “Ennyimba z'omu Kiggwa ku olwo zirifuuka biwoobe; emirambo giriba mingi nga gigaŋŋalamye wonna. Sirika!” |
|
| 4 |
|
| Muwulire kino mmwe abalinnyirira abaavu, mmwe abasaanyaawo abanaku mu nsi, |
|
| 5 |
|
| nga mugamba nti: “Omwezi gunaggwaako ddi tutunde obuwunga bwaffe, Sabbaato eyita ddi tutwale eŋŋano yaffe mu katale, tukendeeze ku efa, ne sekeli tugyongereko, tuseere nga tweyambisa amayinja amakyamu, |
|
| 6 |
|
| tugule abankuseere ne zaabu, abanaku tubagule n'omugogo gw'engatto, era tutunde ebisusunku by'eŋŋano?” |
|
| 7 |
|
| Omukama alayidde okwekuza kwa Yakobo: “Emirembe gyonna siryerabira byonna bye baakola.” |
|
| 8 |
|
| Ensi terikaankana olwa kino, ne buli yenna agisulamu taliwooba? Ensi erituumbiira nga Kiyira; eribimba n'ekka ng'omugga gw'e Misiri. |
|
| 9 |
|
| “Ku olwo,” Omukama Katonda y'agamba, “ndigira enjuba n'egwa mu ttuntu, n'ensi ndigiteeka mu nzikiza emisana ttuku. |
|
| 10 |
|
| Embaga zammwe enkulu ndizifuula za kukaaba, n'ennyimba zammwe zonna ndizifuula za kukungubaga; buli omu mu mmwe ndimwambaza ekikutiya, era ndimumwa enviiri. Ndirufuula ng'olunaku olw'okukungubagira omutabani eyazaalibwa omu, luliggwa ng'olunaku olw'ennyiike. |
|
| 11 |
|
| “Ennaku zijja,” Omukama y'agamba, “lwe nnaasindika enjala mu ggwanga lyonna; kyokka si njala ey'emmere oba ennyonta ey'amazzi, naye enjala ey'okuwulira ekigambo ky'Omukama. |
|
| 12 |
|
| Abantu balizuŋŋana okuva ku nnyanja emu okutuuka ku ndala, okuva emambuka okutuusa ebuvanjuba, nga banoonya ekigambo ky'Omukama, kyokka tebalikizuula. |
|
| 13 |
|
| “Ku olwo abawala abalungi n'abalenzi ab'amaanyi baliyenjebuka olw'ennyonta. |
|
| 14 |
|
| Abo bonna abalayira omusango gwa Samariya, ne bagamba nti: ‘Mazima lubaale wo nga mulamu, ggwe Daani!’ Oba nti: ‘Ndayidde ekkubo ly'e Beeriseba!’ Baligwa, tebaliddamu kusituka mulundi mulala.” |
|
|
|
|