Okwolesebwa kwa Obadiya. Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda ku Edomu; nti Tuwulidde ebigambo ebiva eri Mukama n’omubaka atumiddwa eri amawanga nti Muyimuke, tuyimuke ku nsi ye tulwane naye.
Abantu bonna abaalagaana gy'oli bakuwerekedde okutuuka ku nsalo; abantu abaali balina emirembe naawe bakukyamizza era bakulemye; abaalya emmere yo batega omutego wansi wo; so temuli kutegeera mu ye.
Ku lunaku lwe wayimirira ku mabbali, ku lunaku abayise lwe baanyaga ebintu bye n'abagenyi lwe baayingira mu nzigi ze eza wankaaki ne bakuba akalulu ku Yerusaalemi, naawe n'ofaanana ng'omu ku abo.
Naye totunuulira lunaku lwa muganda wo ku lunaku olw'okugwirwako akabi, so tosanyuka olw'abaana ba Yuda ku lunaku olw'okuzikirira kwabwe; so teweekuza n'akamwa ko ku lunaku olw'akabi.
Toyingiranga mu luggi olwa wankaaki olw'abantu bange ku lunaku mwe balirabira ennaku; so naawe totunuuliranga kabi kaabwe ku lunaku mwe balirabira ennaku so temukomanga ku bintu byabwe ku lunaku mwe balirabira ennaku.
Era ennyumba ya Yakobo eriba muliro n'ennyumba ya Yusufu eriba lulimi olw'omuliro n'ennyumba ya Esawu nsambu, nabo balyaka gye bali, balibazikiriza; so tewaliba muntu wa mu nnyumba ya Esawu alisigalawo; kubanga Mukama ye akyogedde.
N'olusozi lwa Esawu lulifuuka lw'abo ab'obukiika obwa ddyo; ensi y'Abafirisuuti eriba y'abo ab'ensenyi; era bo balirya ennimiro ya Efulayimu, n'ennimiro ey'e Samaliya: era Gireyaadi eriba ya Benyamini.