Naye Yona n'agolokoka okuddukira e Talusiisi okuva mu maaso ga Mukama; n'aserengeta e Yopa n'alaba ekyombo nga kigenda e Talusiisi; awo n'abawa empooza yaakyo n'asaabala omwo agende nabo e Talusiisi ave mu maaso ga Mukama.
N'abo abaavuga ne batya ne bakaabirira buli muntu katonda we; ne basuula mu nnyanja ebintu ebyali mu kyombo bakiwewule. Naye Yona yali ng'asse mu kisenge eky'omu kyombo, ng'agalamidde, yeebase otulo.
Ne boogera buli muntu ne muganda we nti Jjangu tukube akalulu tulyoke tutegeere gwe tulangibwa akabi kano okutubaako. Awo ne bakuba akalulu, akalulu ne kagwa ku Yona.
Kyebaava bakaabirira Mukama ne boogera nti Tukwegayiridde, ai Mukama, tukwegayiridde tuleme okuzikirira ku lw'obulamu obw'omuntu ono; so totussaako musaayi ogutaliiko musango; kubanga ggwe, ai Mukama, ggwe okoze ky'oyagala.