×

Luganda Bible

Yona 2

1
Awo Yona n'asaba Mukama Katonda we mu lubuto olw'ekyennyanja.
2
N'ayogera nti Nakaabirira Mukama kubanga nalaba ennaku, N'anziramu; Mu lubuto lw'emagombe nakoowoola; N'owulira eddoboozi lyange.
3
Kubanga wansuula mu buziba, mu mutima ogw'ennyanja, Amataba ne ganneetooloola; Amayengo go gonna n'amasingiisira go gaayita waggulu ku nze.
4
Ne njogera nti Ngobeddwa mu maaso go; Naye naatunuulira nate yeekaalu yo entukuvu.
5
Amazzi gansaanikira, era okutuuka ku bulamu; Obuziba bwanneetooloola; Endago zambikka ku mutwe gwange.
6
Ne nzika ensozi we zisibuka; Ensi n'ebisiba byayo ne binzigalira emirembe gyonna; Naye oggyeemu obulamu bwange mu bunnya, ai Mukama, Katonda wange.
7
Emmeeme yange bwe yazirika mu nze, ne njijukira Mukama; N'okusaba kwange ne kutuuka gy'oli, mu yeekaalu yo entukuvu.
8
Abo abassaayo omwoyo ku by'obulimba ebitaliimu balekayo okusaasirwa kwabwe.
9
Naye nze naakuwa ssaddaaka yange n'eddoboozi ery'okwebaza; Naasasula obweyamo bwange. Obulokozi buva eri Mukama.
10
Awo Mukama n'alagira ekyennyanja ne kisesema Yona ku lukalu.
Luganda Bible
Luganda Bible 1968 Edition United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013
:
Save Notes