Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Awo Yona n’asinziira mu kyennyanja n’asaba Mukama Katonda we, ng’agamba |
| 2 |
| nti, “Mu nnaku yange ennyingi nakaabirira Mukama n’anziramu; mu buziba ewala mu magombe nakukoowoola, era n’owulira eddoboozi lyange! |
| 3 |
| Kubanga wansuula ewala mu buziba mu nnyanja, ne nzika, amayengo gonna, ensozi n’ensozi z’amazzi ebikunta ne bimbikka ne binneetooloola. |
| 4 |
| Ne ndyoka njogera nti, ‘Ngobeddwa mu maaso go; Ddala ndiddayo nate okulaba yeekaalu yo entukuvu?’ |
| 5 |
| Nakkira ddala ku ntobo wansi w’amayengo, okufa ne kumbeerera ddala kumpi; Amazzi nga ganneetoolodde era ng’omuddo gw’omu nnyanja gunneezingiridde ku mutwe. |
| 6 |
| Ne ŋŋendera ddala ku ntobo, ensozi z’omu nnyanja gye zisibuka, eyo, ensi n’ensibirayo emirembe n’emirembe. Naye ggwe Mukama Katonda wange, onzigye mu bunnya, Ayi Mukama Katonda wange. |
| 7 |
| “Bwe nnali nga mpweddemu essuubi, emmeeme yange ng’ezirika ne nkujjukira, Ayi Mukama Katonda. Awo okusaba kwange entakeera ne kutuuka mu yeekaalu yo entukuvu. |
| 8 |
| “Abo abassaayo omwoyo ku balubaale ne bakatonda abataliimu ne babasinza, beefiiriza okusaasirwa kwa Katonda okubalindiridde! |
| 9 |
| Naye nze, n’oluyimba olw’okukutendereza, ndikuwa ssaddaaka. Ddala ndituukiriza obweyamo bwange kubanga obulokozi buva eri Mukama Katonda.” |
| 10 |
| Awo Mukama Katonda n’alagira ekyennyanja ne kiwandula Yona n’agwa ettale ku lukalu. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/jonah/002.mp3
4
2