EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
|
| 1 |
| Awo Yona n'asaba Mukama Katonda we ng'ali mu lubuto olw'ekyennyanja. |
| 2 |
| N'agamba nti, “Mu nnaku yange ennyingi nakaabirira Mukama N'anziramu; Nasinziira emagombe ne nkukoowoola, N'owulira eddoboozi lyange. |
| 3 |
| Kubanga wansuula mu buziba, wakati mu nnyanja, Amazzi ne ganneetooloola, Amayengo go ag'amaanyi ne gampita kungulu. |
| 4 |
| Ne ndyoka njogera nti, ‘Ngobeddwa mu maaso go. Ddala ndiddamu nate okulaba Yeekaalu yo entukuvu?’ |
| 5 |
| Amazzi gansaanikira ne gaagala okunsaanyaawo, Obuziba bw'ennyanja bwanneetooloola, Omuddo ogw'omu nnyanja nga gunneezingiridde ku mutwe gwange. |
| 6 |
| Nnakka wansi ensozi we zisibuka, Mu nsi, enzigi zaayo gye ziba ensibe ennaku zonna. Naye ggwe, ayi Mukama, Katonda wange, onziggye mu bunnya nga ndi mulamu. |
| 7 |
| Bwe n'awulira ng'obulamu bunzigwamu ne njijukira Mukama, N'okusaba kwange ne kutuuka gy'oli, mu Yeekaalu yo entukuvu. |
| 8 |
| Abo abassa omwoyo ku by'obulimba ebitaliimu beefiiriza kusaasirwa kwa Katonda okubalindiridde! |
| 9 |
| Naye nze nnaakuwa ssaddaaka yange nga bwe nkutendereza. Naasasula obweyamo bwange. Kubanga obulokozi buva eri Mukama.” |
| 10 |
| Awo Mukama n'alagira ekyennyanja ne kisesema Yona ku lukalu. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandalbr/jonah/002.mp3
4
2