Luganda Bible
|
| 1 |
| Awo ekigambo kya Mukama ne kijja eri Yona omulundi ogw'okubiri, nga kyogera nti |
| 2 |
| Golokoka, ogende e Nineeve, ekibuga ekyo ekinene, okibuulirire okubuulira kwe nkugamba. |
| 3 |
| Awo Yona n'agolokoka n'agenda e Nineeve nga Mukama bwe yamugamba. Era Nineeve kyali kibuga kinene nnyo nnyini olugendo lwa nnaku ssatu okukibunya. |
| 4 |
| Yona n'asooka okuyingira mu kibuga n'atambula olugendo lwa lunaku lumu n'ayogerera waggulu n'agamba nti Ennaku amakumi ana bwe ziriyitawo, Nineeve kirizikirira. |
| 5 |
| Abantu ab'omu Nineeve ne bakkiriza Katonda ne balangirira okusiiba ne bambala ebibukutu, bonna okuva ku mukulu okutuuka ku muto. |
| 6 |
| Ebigambo ne bituuka ku kabaka ow'e Nineeve, n'agolokoka ku ntebe n'ayambulamu ekyambalo kye ne yeebikkako ebibukutu n'atuula mu vvu. |
| 7 |
| N'alangirira n'abuulira okubunya Nineeve olw'etteeka lya kabaka n'abakungu be, n'agamba nti Omuntu n'ensolo, eggana n'ekisibo, bireme okulega ku kintu; bireme okulyako n'okunywa amazzi; |
| 8 |
| naye babikkibwe ebibukutu, omuntu era n'ensolo, bakaabirire nnyo nnyini Katonda; era bikyuke, buli kintu mu kkubo lyakyo ebbi ne mu kyejo ekiri mu mikono gyabyo. |
| 9 |
| Ani amanyi nga Katonda alikyuka alyejjusa, n'akyuka okuleka obusungu bwe obukambwe tuleme okuzikirira? |
| 10 |
| Katonda n'alaba emirimu gyabwe nga bakyuse mu kkubo lyabwe ebbi; Katonda ne yejjusa obubi bwe yali ayogedde okubakola; n'atabubakola. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/jonah/003.mp3
4
3