Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Awo Mukama n'ayogera ne Yona omulundi ogwokubiri, |
| 2 |
| n'agamba nti: “Situka ogende e Nineeve, ekibuga ekyo ekinene, okirangirire obubaka bwe nkuwa.” |
| 3 |
| Awo Yona n'asituka, n'alaga e Nineeve nga Mukama bwe yamugamba. Nineeve kyali kibuga kinene nnyo, nga kya lugendo lwa nnaku ssatu okutambula okukiyitamu. |
| 4 |
| Yona n'atandika okuyita mu kibuga. Bwe yatambulako olugendo lwa lunaku lumu, n'alangirira nti: “Esigadde ennaku amakumi ana, Nineeve kizikirire!” |
| 5 |
| Abantu b'e Nineeve ne bakkiriza obubaka bwa Katonda ne balangirira okusiiba. Ne bambala ebikutiya, bonna okuva ku mukulu okutuuka ku muto. |
| 6 |
| Kabaka w'e Nineeve bwe yabiwulira, n'asituka ku ntebe ye ey'obwakabaka, n'ayambulamu ekyambalo kye, n'ayambala ekikutiya, n'atuula mu vvu. |
| 7 |
| N'aweereza ekirangiriro wonna mu Nineeve nti: “Kino kye kiragiro kya kabaka n'abakungu be: tewaba n'omu abaako k'alya wadde k'anywa, k'abe muntu, oba ente, oba endiga, wadde ensolo endala yonna. |
| 8 |
| Abantu bambale ebikutiya, beegayirire nnyo Katonda. Buli omu alekeyo empisa ze embi, n'ebikolwa bye ebibi. |
| 9 |
| Oboolyawo Katonda anaakyusa ekirowoozo kye, n'alekayo obusungu bwe obukambwe, ne tutazikirira.” |
| 10 |
| Katonda n'alaba bye bakoze, era nga bwe baleseeyo empisa zaabwe embi, n'akyusa ekirowoozo kye, n'atababonereza, nga bwe yali agambye okubabonereza. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/jonah/003.mp3
4
3