Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Yona omulundi ogwokubiri, n’amugamba nti, |
| 2 |
| “Genda mu kibuga ekinene Nineeve obalabule n’obubaka buno bwe nkuwa.” |
| 3 |
| Awo Yona n’agondera Mukama n’agenda e Nineeve. Nineeve kyali kibuga kya kitiibwa nnyo era nga kitwala ennaku ssatu okukibuna kyonna. |
| 4 |
| Ku lunaku olwasooka Yona yatambula olunaku lwonna ng’agenda alangirira nti, “Bwe waliyitawo ennaku amakumi ana, Nineeve kirizikirira.” |
| 5 |
| Abantu b’omu Nineeve ne bakkiriza Katonda, ne balangirira okusiiba ne beesiba ebibukutu, bonna okuva ku asinga ekitiibwa okutuuka ku asembayo okuba owa wansi. |
| 6 |
| Amawulire gano bwe gaatuuka ku kabaka w’e Nineeve, n’ayimuka ku ntebe ye ey’obwakabaka, ne yeeyambulamu ekyambalo kye, ne yeesiba ekibukutu, n’atuula mu nfuufu. |
| 7 |
| Kabaka teyakoma awo, wabula n’ayisa n’etteeka n’alibunya Nineeve yonna nga ligamba nti, Olw’ekiragiro kya kabaka n’abakungu be: “Tewaba muntu yenna, wadde ensolo oba eggana n’ekisibo, okukomba ku mmere wadde amazzi; |
| 8 |
| naye buli muntu n’ekisibo bibikkibwe n’ebibukutu, era bikaabirire nnyo Katonda, era birekeraawo okwonoona n’okukola eby’obukambwe. |
| 9 |
| Ani amanyi? Oboolyawo Katonda anaakyusa ku kibonerezo kye, kye yatusalira n’akkakkanya obusungu bwe n’atatuzikiriza.” |
| 10 |
| Awo Katonda bwe yalaba kye bakoze, ne baleka n’ebibi byabwe, n’abasonyiwa n’atabatuusaako kibonerezo, kye yali agambye okubatuusaako. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/jonah/003.mp3
4
3