Luganda Bible
|
| 1 |
| Naye Yona n'atasiima n'akatono n'anyiikaala. |
| 2 |
| N'asaba Mukama n'ayogera nti Nkusaba, ai Mukama, saayogera bwe ntyo nga nkyali mu nsi y'ewaffe. Kyennava nnyanguwa okuddukira e Talusiisi; kubanga nategeera nti oli Katonda mulungi ajjudde okusaasira alwawo okusunguwala, alina ekisa ekingi, era ataleeta bubi. |
| 3 |
| Kale nno, ai Mukama, nkwegayiridde, onziyeko obulamu bwange; kubanga waakiri nfe okusinga okuba omulamu. |
| 4 |
| Mukama n'ayogera nti Ggwe okoze bulungi okusunguwala? |
| 5 |
| Awo Yona n'afuluma mu kibuga n'atuula ku luuyi olw'ekibuga olwolekedde ebuvanjuba n'asiisira eyo ekisiisira n'atuula omwo mu kisiikirize kyakyo okutuusa lw'aliraba ekibuga bwe kiriba. |
| 6 |
| Mukama Katonda n'ategeka ekiryo n'akimeza awali Yona kimusiikirize ku mutwe gwe, kimuwonye ennaku ze yali alabye. Awo Yona n'asanyuka nnyo olw'ekiryo. |
| 7 |
| Naye Katonda n'ategeka ekiwuka obudde bwe bwakya enkya, ne kiruma ekiryo ne kiwotoka. |
| 8 |
| Awo olwatuuka enjuba bwe yavaayo, Katonda n'ategeka embuyaga ez'obuvanjuba ez'olubugumu, omusana ne gwokya Yona mu mutwe gwe, n'azirika n'asaba afe, n'ayogera nti Waakiri nfe okusinga okuba omulamu. |
| 9 |
| Katonda n'agamba Yona nti Ggwe okoze bulungi okusunguwala ku lw'ekiryo? N'ayogera nti Nkoze bulungi okusunguwala okutuusa lwe ndifa. |
| 10 |
| Mukama n'ayogera nti Osaasidde ekiryo kyotaakolera mulimu so ky'otaameza; ekyamerera ekiro ekimu, ne kibulira ekiro ekimu; |
| 11 |
| nange sandisaasidde Nineeve, ekibuga ekyo ekinene; omuli abantu akasiriivu mu obukumi obubiri n'okusukkirirawo abatayinza kwawula mukono gwabwe ogwa ddyo n'omukono gwabwe ogwa kkono; era n'ensolo ennyingi? |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/jonah/004.mp3
4
4