BIBULIYA ENTUKUVU
|
| 1 |
| Naye Yona n'anyiiga nnyo, n'asunguwala. |
| 2 |
| Ne yeegayirira Omukama nti: “Ayi Mukama, ekyo si kye nagamba nga nkyali eka? Kyennava nnyanguwa okuddukira e Tarusisi. Namanya nga ggwe oli Katonda omusaasizi era ow'ekisa, atasunguwala mangu, ajjudde okwagala, ayeddamu n'atakola kabi. |
| 3 |
| Kale nno, ayi Mukama, obulamu bwange butwale; waakiri nfe okusinga okuba omulamu.” |
| 4 |
| Omukama n'amuddamu nti: “Olowooza ng'oli mutuufu okusunguwala?” |
| 5 |
| Awo Yona n'afuluma n'agenda atuula ku luuyi lw'ekibuga olw'ebuvanjuba. Ne yeekolera awo akasiisira, n'atuula omwo mu kisiikirize kyakyo, n'atunula alabe ekinaatuukirira ekibuga. |
| 6 |
| Omukama Katonda n'asibusa omusogasoga, ne guwanvuwa waggulu ku Yona gusiikirize omutwe gwe, gumuwonye muli obuteeyagala. Yona n'asanyukira nnyo omusogasoga ogwo. |
| 7 |
| Naye enkeera mmambya ng'asala, Katonda n'ategeka envunyu, n'erya omusogasoga ne guwotoka. |
| 8 |
| Enjuba bwe yavaayo, Katonda n'asindika empewo ey'ebuvanjuba eyokya; enjuba n'eyokya Yona omutwe, n'ayenjebuka. Ne yeesabira okufa, n'agamba nti: “Waakiri nfe okusinga okuba omulamu.” |
| 9 |
| Katonda n'agamba Yona nti: “Olowooza oli mutuufu okusunguwalira omusogasoga?” N'ayanukula nti: “Ndi mutuufu okusunguwala n'okutuusa okufa.” |
| 10 |
| Omukama n'agamba nti: “Ggwe olumirwa omusogasoga gw'otaateganira n'akamu yadde okukuza. Gwalokera mu kiro kimu ne gufiira mu kiro kimu. |
| 11 |
| Naye nze sandirumiriddwa Nineve ekibuga kino ekikulu, omusula abantu abasukka mu kasiriivu mu emitwalo ebiri, abatasobola kwawula mukono gwabwe ogwa ddyo ku gwa kkono, nga kw'ogasse n'ebisolo enkumu?” |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandabibu1/jonah/004.mp3
4
4