|
| 1 |
|
| Kale muwulire ebyo Mukama by'ayogera; nti Yimuka, yomba mu maaso g'ensozi; obusozi buwulire eddoboozi lyo. |
|
| 2 |
|
| Muwulire, mmwe ensozi, ennyombo za Mukama, era mmwe emisingi egy'ensi egy'oluberera: kubanga Mukama alina ennyombo n'abantu be, aliwoza ne Isiraeri. |
|
| 3 |
|
| Mmwe abantu bange, mbakoze ki? nali mbakooyezza naki? munnumirize. |
|
| 4 |
|
| Kubanga nakuggya mu nsi y'e Misiri ne nkununula mu nnyumba ey'obuddu; ne nkukulembeza Musa ne Alooni ne Miryamu. |
|
| 5 |
|
| Mmwe abantu bange, mujjukire nno Balaki kabaka wa Mowaabu bye yateesa, era Balamu omwana wa Byoli bye yamuddamu; mujjukire ebyabaawo okuva e Sittimu okutuuka e Girugaali, mulyoke mumanye ebikolwa eby'obutuukirivu ebya Mukama. |
|
| 6 |
|
| Najja naki eri Mukama ne nvuunama mu maaso ga Katonda asinga byonna? mmusemberere n'ebiweebwayo ebyokebwa, n'ennyana ezaakamaze omwaka gumu? |
|
| 7 |
|
| Mukama alisiima endiga eza seddume enkumi oba emigga egy'amafuta obukumi? mpeeyo omwana wange omubereberye olw'okwonoona kwange, mpeeyo ekibala ky'omubiri gwange olw'ekibi eky'omu mmeeme yange? |
|
| 8 |
|
| Akubuulidde, ggwe omuntu, ekirungi bwe kiri; era Mukama akusalira kiki, wabula okukola eby'ensonga, era okwagala ekisa, era okutambula n'obuwombeefu ne Katonda wo? |
|
| 9 |
|
| Eddoboozi lya Mukama lyogerera waggulu eri ekibuga, n'ow'amagezi aliraba erinnya lyo; muwulire omuggo, n'oyo bw'ali agulagidde. |
|
| 10 |
|
| Ebintu eby'omuwendo eby'obubi bikyali mu nnyumba y'omubi, n'ekigera ekitatuuka eky'omuzizo? |
|
| 11 |
|
| Ndiba mulongoofu bwe mba ne minzaani ey'obubi n'ensawo erimu ebipima eby'obulimba? |
|
| 12 |
|
| Kubanga abagagga baakyo bajjudde ekyejo, n'abo ababeera mu kyo boogedde eby'obulimba, n'olulimi lwabwe lwa bulimba mu kamwa kaabwe: |
|
| 13 |
|
| Nange kyenvudde nkufumita ekiwundu ekinene; nkuzisizza olw'ebibi byo. |
|
| 14 |
|
| Olirya, so tolikkuta; era okutoowazibwa kwo kuliba wakati wo; era olijjulula, naye tolitwala mirembe; era ky'otwala ndikiwaayo eri ekitala. |
|
| 15 |
|
| Olisiga, naye tolikungula; olirinnyirira zeyituuni, naye tolisaaba mafuta; era olisogola, naye tolinywa ku mwenge. |
|
| 16 |
|
| Kubanga ebyalagirwa Omuli bikuumibwa, era ebikolwa byonna eby'omu nnyumba ya Akabu; nammwe mutambulira mu kuteesa kwabwe; ndyoke nkufnule ekifulukwa, n'abo ababeera mu kyo eky'okuduulirwa; nammwe mulitwala ebivume by'abantu bange. |
|
|
|
|