|
| 1 |
|
| Kale muwulire ebyo Mukama by'agamba nti: “Situka oyombe mu maaso g'ensozi, n'obusozi buwulire ky'ogamba.” |
|
| 2 |
|
| “Mmwe emisingi gy'ensi egy'olubeerera, muwulire okwemulugunya kwa Mukama, kubanga Mukama yeemulugunyiza abantu be. Ajja kulumiriza Yisirayeli.” |
|
| 3 |
|
| Mukama agamba nti: “Mmwe abantu bange, kiki kye mbakoze? Kiki kye mbakaluubiriddemu? Munziremu. |
|
| 4 |
|
| Nabaggya mu nsi y'e Misiri, ne mbanunula mu buddu. Natuma Musa ne Arooni ne Miriyamu okubakulembera. |
|
| 5 |
|
| Naye bantu bange, mujjukire ebyo Balaki, kabaka wa Mowaabu bye yateesa okubakolako, n'ebyo Balamu mutabani wa Bewori bye yamuddamu. Mujjukire ebyabaawo nga muva e Sittimu okutuuka e Gilugaali, mulyoke mumanye bye nkola okubalokola.” |
|
| 6 |
|
| Kiki kye nnaaleetera Mukama, Katonda ow'omu ggulu nga nzija okuvuunama mu maaso ge? Nnaamuleetera nnyana ezaakamala omwaka ogumu, nziweeyo zibe ekitambiro ekyokebwa? |
|
| 7 |
|
| Mukama anaasiima endiga za sseddume enkumi n'enkumi, oba omuzigo ogukulukuta ng'emigga? Omwana wange omuggulanda gwe mba mpaayo olw'ebibi byange? |
|
| 8 |
|
| Mukama atubuulidde ekirungi ky'ayagala. Mukama tatwagaza kirala wabula okukolanga ebituufu, n'okubanga ab'ekisa era n'okumusinzanga Katonda waffe nga tuli beetoowaze. |
|
| 9 |
|
| Kya magezi okutya Mukama. Mukama akoowoola ekibuga nti: “Muwulire mmwe abakuŋŋaanira mu kibuga! |
|
| 10 |
|
| Mu mayumba g'ababi mulimu ebyobugagga bye baafuna mu bukumpanya. Bakozesa ebipimo ebitali bituufu bye nvumirira. |
|
| 11 |
|
| Nnyinza ntya okusonyiwa abantu abakozesa minzaani n'ebipimo ebirala ebitali bituufu? |
|
| 12 |
|
| Kubanga abagagga mu mmwe banyigiriza abaavu, era mwenna muli balimba. |
|
| 13 |
|
| N'olwekyo ntandise okubabonereza n'okubazikiriza olw'ebibi byammwe. |
|
| 14 |
|
| Mulirya, naye temulikkuta. Mulisigala nga mukyalumwa enjala. Mulifiirwa bye mwatereka, ne bye muliwonyaawo ndibizikiririza mu lutalo. |
|
| 15 |
|
| Mulisiga, naye temulikungula. Mulisogola emizayiti ne muggyamu omuzigo, naye temuligukozesa. Mulisogola omwenge, naye temuligunywako. |
|
| 16 |
|
| Kubanga mugoberedde empisa embi eza Omuri n'ebikolwa eby'ab'ennyumba ya Ahabu, era mukoledde ku magezi gaabwe. Kale mmwe abantu bange ndibazikiriza. Mulinyoomebwa abantu bonna, era mulivumibwa buli wantu.” |
|
|
|
|