|
| 1 |
|
| Nineeve, olumbiddwa, ow'okukusaanyawo atuuse, kuuma ekigo kyo, tunuulira ekkubo, weesibe wenyweze, funvubira n'amaanyi go gonna. |
|
| 2 |
|
| Mukama anaatera okuzzaawo ekitiibwa kya Yakobo, kye kitiibwa kya Isiraeri, abaabazinda kye baali bafeebezza, n'emizabbibu gye bayonoona. |
|
| 3 |
|
| Abasajja be abazira bakutte engabo emmyufu, abasserikale be bambadde ebyambalo ebitwakaavu. Amagaali gaabwe ag'ebyuma gaakaayakana ng'omuliro, era n'amafumu gagalulwa n'entiisa. |
|
| 4 |
|
| Amagaali g'abalwanyi getawulira mu nguudo z'ekibuga, galabika ng'emimuli egyaka, gamyansa ng'eggulu. |
|
| 5 |
|
| Abaduumizi bayitibwa, ne bajja nga batomeragana butomeraganyi. Abalumbi banguwa okutuuka ku bbugwe ow'ekigo, ne bategeka okukiggunda. |
|
| 6 |
|
| Enzigi ez'oku migga zigguddwawo, amazzi ne gasaanyawo olubiri. |
|
| 7 |
|
| Nnaabakyala n'anyagibwa, n'atwalibwa nga musibe. Abazaana be ne bakaaba ng'amayiba, nga bwe beekuba mu bifuba byabwe olw'okunakuwala. |
|
| 8 |
|
| Abo mu Nineeve bafaanana ng'ekidiba ky'amazzi agakulukuta. Wadde nga babakoowoola nti, “Muyimirire, muyimirire!” Tewali atunula mabega. |
|
| 9 |
|
| Munyage ffeeza, munyage zaabu, eby'obugagga tebiriiko kkomo. Ekibuga kijjudde ebintu, buli kirungi kiri omwo! |
|
| 10 |
|
| Nineeve kisaanyiziddwawo, abantu baamu bonna emitima gibeewanise, amaviivi gabakubagana, n'ebiwato bibakankana, era basiiwuse ne mu maaso olw'entiisa. |
|
| 11 |
|
| Ekibuga kiri ludda wa ekyali eky'ekitiibwa ng'empuku y'empologoma, empologoma ento mwe zaaliiranga, era mwe zaasigalanga awatali azitiisa, ng'empologoma enkulu ensajja n'enkazi zitambudde? |
|
| 12 |
|
| Nineeve yali mpologoma ensajja, buli kye yattanga n'ekitaagula obulere, n'ekireetera ento ezo, era n'enkazi zaayo, n'ejjuza empuku yaayo, ensolo ezitaaguddwa. |
|
| 13 |
|
| Bwati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, “Ndi mulabe wo, ndyokya amagaali go ne ganyooka omukka, era abasserikale bo balizikirizibwa n'ekitala, nditwala byonna bye wanyaga. Eddoboozi ly'ababaka bo teriiwulirwenga nate.” |
|
|
|
|