|
| 1 |
|
| Omugugu nnabbi Kaabakuuku gwe yalaba. |
|
| 2 |
|
| Ayi Mukama, ndituusa wa okukaaba naawe nga tokkiriza kuwulira? Nkukaabirira nti, “obukambwe!” Naye ggwe tokkiriza kutulokola. |
|
| 3 |
|
| Lwaki ondeka okulaba ebikyamu, era n'okutunulira emitawaana? Okuzikiriza n'obukambwe biri mu maaso gange; era waliwo empaka, n'okuyomba. |
|
| 4 |
|
| Amateeka kyegavudde gaddirira, ne wataba kugoba mazima n'akatono; kubanga omubi azingizza omutuukirivu; kwe kulaba nga n'amazima ganyooleddwa. |
|
| 5 |
|
| Mutunule mu mawanga, mulabe; mwewuunye era mutye, kubanga nkolera omulimu mu nnaku zammwe, gwe mutalikkiriza newakubadde nga mugubuuliddwa. |
|
| 6 |
|
| Kubanga, laba, ngolokosa Abakaludaaya, eggwanga eryo ekkakali eryanguyiriza; abasimba ennyiriri ne batambula okubunya ensi bwe yenkana obugazi, nga banyaga ebintu by'abalala n'okutwala ennyumba ezitali zaabwe. |
|
| 7 |
|
| Ba ntiisa, bazibu, amazima gaabwe n'ekitiibwa biva mu bo bennyini. |
|
| 8 |
|
| Embalaasi zaabwe zisinga engo embiro, era nkambwe okusinga emisege egy'ekiro, n'abasajja baabwe abeebagala embalaasi beeyagala, weewaawo, abasajja baabwe abeebagala embalaasi bava wala; babuuka ng'empungu eyanguyira eky'okulya. |
|
| 9 |
|
| Bonna bajja lwa bukambwe; entiisa yaabwe ebakulemberamu; era bakuŋŋaanya abasibe ng'omusenyu. |
|
| 10 |
|
| Weewaawo, basekerera bakabaka, n'abakungu baba ba kuduulirwa gyebali; baasekerera buli kigo, kubanga batuuma enfuufu ne bakimenya. |
|
| 11 |
|
| Awo bayita nga bawulukuka ng'embuyaga era ne bagenda, abasajja abasingiddwa omusango, amaanyi gaabwe ye katonda waabwe. |
|
| 12 |
|
| Ggwe toli wa mirembe n'emirembe, ayi Mukama Katonda wange, Omutukuvu wange? Tetulifa. Ayi Mukama, wamuteekerawo musango, naawe ayi Olwazi wamunywereza kubuulirira. |
|
| 13 |
|
| Ggwe alina amaaso amalongoofu ennyo agatayinza kutunuulira bubi, so toyinza kulaba bukyamu, lwaki ggwe okutunuulira abo abakuusakuusa, n'osirika omubi ng'amira omuntu amusinga obutuukirivu? |
|
| 14 |
|
| Kubanga abantu obafuula ng'ebyennyanja ebiri mu nnyanja, era ng'ebintu ebyewalula ebitaliiko abifuga. |
|
| 15 |
|
| Abakwata bonna n'eddobo, abatega mu muya gwe, era abakuŋŋaanyiza mu kiragala kye; kyava asanyuka n'ajaguza. |
|
| 16 |
|
| Kyava awaayo ssaddaaka eri omuya gwe, n'ayotereza ekiragala kye obubaane; kubanga olw'ebyo omugabo gwe kyeguva guba ogwa ssava, emmere ye ngagga. |
|
| 17 |
|
| Kale alibeera buli kiseera nga afukumula omuya gwe, era awatali kusaasira n'atta amawanga emirembe gyonna? |
|
|
|
|