×

Luganda Bible

Zekkaliya 10

1
Musabe Mukama enkuba mu biro ebya ddumbi, Mukama akola ebimyansa; naye alibawa empandaggirize, buli muntu omuddo mu ttale.
2
Kubanga amayembe googedde ebitaliimu n'abalaguzi balabye obulimba; ne boogera ebirooto eby'obulimba, ne basanyusiza bwereere; kyebava bazuŋŋana ng'endiga; babonaabona kubanga tewali musumba.
3
Obusungu bwange buyimuse ku basumba, era ndibonereza embuzi ennume; kubanga Mukama w'eggye akyalidde ekisibo kye; ye nnyumba ya Yuda, era alibafuula ng'embalaasi ye ennungi ku lutalo.
4
Eri ye erivaayo ejjinja ery'oku nsonda, era eri ye enninga, era eri ye buli mukamuzi waamu.
5
Nabo baliba ng'abazira abalinnyirira abalabe baabwe mu bitoomi eby'omu nguudo ku lutalo; nabo balirwana kubanga Mukama ali wamu nabo: n'abo abeebagala embalaasi baliswala.
6
Nange ndiwa amaanyi ennyumba ya Yusufu, nange ndibakomyawo kubanga mbasaasidde; nabo baliba nga bwe bandibadde singa saabagoba; kubanga nze Mukama Katonda waabwe, nange ndibawulira.
7
N'aba Efulayimu balibeera ng'omuzira, n'omutima gwabwe gulisanyuka ng'asanyukira omwenge weewaawo, abaana baabwe balikiraba balisanyuka; omutima gwabwe gulisanyukira Mukama.
8
Ndibayitiriza ndibakuŋŋaanya; kubanga mbanunudde; era balyala nga bwe baayala.
9
Nange ndibasiga mu mawanga, era balinjijukira nga bayima mu nsi ez'ewala; era baliba balamu n'abaana baabwe, era balikomawo.
10
Nange ndibaggya mu nsi ya Misiri, ndibakuŋŋaanya nga mbaggya mu Bwasuli; era ndibatuusa mu nsi ya Gireyaadi ne Lebanooni; so tewalibalabikira bbanga.
11
Naye aliyita mu nnyanja ey'okubonaabona, alikuba amayengo mu nnyanja, n'obuziba bwonna obwa Kiyira bulikalira; n'ekyejo eky'Obwasuli kirikkakkanyizibwa, n'omuggo gwa kabaka w'e Misiri gulimuggibwako.
12
Nange ndibassaamu amaanyi mu Mukama; nabo balitambulatambula mu linnya lye, bw'ayogera Mukama.
Luganda Bible
Luganda Bible 1968 Edition United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013
:
Save Notes