Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Musabe Mukama enkuba mu biseera byayo mw'etonnyera. Mukama ye agaba ebire by'enkuba etonnya n'emereza bonna ebimera mu nnimiro. |
| 2 |
| Abantu beebuuza ku mayembe ne ku balaguzi, ne ku bavvuunuzi b'ebirooto, naye bye babaddamu bya bulimba, biwubisa, era tebiriimu mugaso. Abantu kyebava batangatanga ng'endiga ezibuze. Babonaabona olw'obutaba na mukulembeze. |
| 3 |
| Mukama agamba nti: “Nsunguwalidde abakulembeze, abafuzi b'abantu bange, era nja kubabonereza. Abantu b'omu Buyudaaya bange, era Nze, Mukama Nnannyinimagye, nja kubalabirira. Nja kubafuula ng'embalaasi zange ez'omu lutalo ez'amaanyi. |
| 4 |
| Mu bo mulivaamu abafuzi n'abakulembeze n'abaduumizi b'eggye, abalifuga abantu bange. |
| 5 |
| Abantu b'omu Buyudaaya baliba ng'abalwanyi abazira, abalinnyirira abalabe baabwe mu bitoomi eby'omu nguudo. Balirwana, kubanga Mukama ali wamu nabo, era baliwangula n'abalabe abeebagala embalaasi. |
| 6 |
| “Ndiwa ab'omu Buyudaaya amaanyi, ndiwa ab'omu Yisirayeli obuwanguzi. Ndibakwatirwa ekisa, ne mbakomyawo ewaabwe. Baliba nga be sigobanga, kubanga nze Mukama Katonda waabwe, era ndiwulira bye basaba. |
| 7 |
| Ab'omu Yisirayeli baliba ba maanyi ng'abalwanyi abazira. Balisanyuka ng'abanywedde omwenge. Bazzukulu baabwe banajjukiranga kino ne basanyuka olw'ebyo Mukama by'akoze. |
| 8 |
| “Ndiyita abantu bange, ne mbakuŋŋaanya. Ndibanunula era baliba bangi nga bwe baabanga edda. |
| 9 |
| Newaakubadde nabasaasaanya mu mawanga, naye balinzijukira nga bali mu nsi ez'ewala, era bo n'abaana baabwe baliba balamu era balikomawo. |
| 10 |
| “Ndibakuŋŋaanya nga mbaggya mu nsi y'e Misiri ne mu Assiriya, mbaleete mu nsi y'e Gileyaadi, ne mu Lebanooni, wonna wajjule abantu. |
| 11 |
| “Bwe baliba bayita mu nnyanja ey'okubonaabona, nze Mukama ndikuba amayengo. N'obuziba bwonna obwa Kiyira bulikalira. Assiriya eyeekulumbaza eritoowazibwa. N'obuyinza bwa Misiri buliggwaawo. |
| 12 |
| Ndiwa abantu bange amaanyi. Balinsinza era balimpulira.” Mukama ye ayogedde. |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/zechariah/010.mp3
14
10