Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Musabe Mukama enkuba mu biseera byayo; kubanga Mukama y’akola ebire enkuba n’etonnya, olwo buli muntu n’afuna ebirime. |
| 2 |
| Kubanga bakatonda abalala n’abalaguzi balaba okwolesebwa okw’obulimba; ne baloota ebirooto eby’obulimba, ne bagumya abantu eby’obulimba. Abantu kyebava bazuŋŋana ng’endiga, nga banyigirizibwa olw’obutaba na musumba. |
| 3 |
| “Obusungu bwange bubuubuukidde ku basumba era nzija kubonereza abakulembeze ba Yuda, kubanga Mukama ow’Eggye ajja kulabirira endiga ze, ennyumba ya Yuda, era alibafuula ng’embalaasi ye emwenyumiririzaamu ennyo mu lutalo. |
| 4 |
| Mu Yuda mulivaamu ejjinja ery’oku nsonda, muveemu n’enkondo enyweza weema, muveemu n’omutego ogw’akasaale era muveemu na buli mufuzi yenna. |
| 5 |
| Bonna awamu balyoke babe ng’abasajja abazira ennyo mu lutalo abatambulira mu bitoomi by’omu nguudo mu biseera eby’entalo. Kubanga Mukama ali nabo, balirwana ne bawangula eggye eryebagadde embalaasi. |
| 6 |
| “Ndiwa ennyumba ya Yuda amaanyi era ndiwonya ennyumba ya Yusufu, ndibakomyawo kubanga mbakwatiddwa ekisa. Balibeera nga be sseegaanangako era ndibawulira kubanga nze Mukama Katonda waabwe. |
| 7 |
| Olwo aba Efulayimu baliba ng’abasajja ab’amaanyi, emitima gyabwe ne gisanyuka nnyo ng’abanywedde wayini. Abaana baabwe balikiraba ne basanyuka, omutima gwabwe gulisanyukira mu Mukama. |
| 8 |
| Ddala ndibawonya ne mbakuŋŋaanya. Ddala ndibanunula, baddeyo babeere bangi nga bwe baabanga. |
| 9 |
| Newaakubadde nga nabasaasaanyiza mu mawanga, naye balisinzira eyo mu nsi ezeewala ne banzijukira. Bo n’abaana baabwe baliba balamu era ne bakomawo gye ndi. |
| 10 |
| Ndibakomyawo okuva mu Misiri, mbakuŋŋaanye okuva mu Bwasuli. Ndibaleeta mu Gireyaadi ne Lebanooni ne bajjula ensi ezo ne watasigalawo kabanga ka kubeeramu. |
| 11 |
| Baliyita mu nnyanja ey’okubonaabona; ennyanja ewuluguma erikkakkanyizibwa, n’obuziba bwa Kiyira bwonna bulikala. Amalala ga Bwasuli galibaggwaamu n’omugo ogw’obufuzi bwa Misiri gulimenyebwa. |
| 12 |
| Ndibafuula ba maanyi mu Mukama era nabo balitambulira mu linnya lyange,” bw’ayogera Mukama. |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/zechariah/010.mp3
14
10