bannyini zo be bazitta ne beeyita abatazzizza musango; n'abo abazitunda bagamba nti Atenderezebwe Mukama, kubanga ngaggawadde: so abasumba baazo zennyini tebazisaasira.
Awo ne ndiisa ekisibo eky'okuttibwa, weewaawo, ennafu ez'omu kisibo. Ne nneetwalira emiggo ebiri; ogumu ne ngutuuma nti Ekisanyukirwa; omulala ne ngutuuma nti Ebisiba; ne ndiisa ekisibo.
Ne mbagamba nti Oba kirungi mu maaso gammwe, mumpe empeera yange; naye oba si kirungi, mulekeeyo. Awo ne bagera okuba empeera yange ebitundu asatu eby'effeeza.
Mukama n'aŋŋamba nti Bisuulire omubumbi, omuwendo ogutuukidde ddala gwe bannamula. Ne ntwala ebitundu asatu ebya ffeeza ne mbisuulira omubumbi mu nnyumba ya Mukama.