Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Ggulawo enzigi zo ggwe Lebanooni, omuliro gwokye emivule gyo. |
| 2 |
| Mukube ebiwoobe mmwe emiberosi, kubanga emivule gigudde, emiti emirungi ennyo gizikiriziddwa! Mukube ebiwoobe mmwe emyera gy'e Basani! Kubanga ekibira ekiwanvu kitemeddwa. |
| 3 |
| Abafuzi bakuba ebiwoobe kubanga ekitiibwa kyabwe kizikiriziddwa! Empologoma zisindogoma, kubanga ebisaka mwe zisula eby'omu Yorudaani bizikiriziddwa. |
| 4 |
| Mukama Katonda wange yaŋŋamba nti: “Lunda endiga ez'okuttibwa. |
| 5 |
| Abazigula, bazitta ne batabonerezebwa. Batunda ennyama, ne bagamba nti: ‘Mukama atenderezebwe, kubanga tugaggawadde.’ Abasumba baazo nabo bennyini tebazisaasira.” |
| 6 |
| Mukama agamba nti: “Sirisaasira nate muntu n'omu ku nsi. Ndiwaayo abantu bonna mu buyinza bw'abafuzi baabwe. Abafuzi abo balibonyaabonya ensi, era siriginunula mu buyinza bwabwe.” |
| 7 |
| Abasuubuzi b'endiga banfuula omusumba, ne nnunda endiga ez'okuttibwa. Ne nkwata emiggo ebiri. Ogumu ne ngutuuma erinnya “Mukisa”. Omulala ne ngutuuma erinnya “Kwegatta”, ne nnunda endiga. |
| 8 |
| Ne neetamwa abasumba abalala basatu abankyawa, ne mbagoba mu mwezi gumu. |
| 9 |
| Awo ne ŋŋamba endiga nti: “Sikyabalunda. Ezo ezinaafa, zife. Ezinaazikirizibwa, zizikirizibwe. Ezo ezinaasigalawo ziryaŋŋane.” |
| 10 |
| Awo ne nkwata omuggo gwange oguyitibwa “Mukisa”, ne ngumenyamu, okumenyawo endagaano, Mukama gye yakola n'amawanga gonna. |
| 11 |
| Endagaano n'emenyebwawo ku lunaku olwo. Awo abasuubuzi b'endiga abaali bantunuulira, ne bategeera nga Mukama yali ayogerera mu ebyo bye nkoze. |
| 12 |
| Ne mbagamba nti: “Oba mwagala, mumpe empeera yange. Oba temwagala, mugisigaze.” Ne bansasula ebitundu amakumi asatu ebya ffeeza, nga ye mpeera yange. |
| 13 |
| Mukama n'aŋŋamba nti: “Bisuulire omubumbi.” Ne ntwala ebitundu amakumi asatu ebya ffeeza, omuwendo gwe baalamula nti gwe gungyaamu, ne mbisuula mu ggwanika ly'Essinzizo. |
| 14 |
| Awo ne mmenyamu omuggo ogwokubiri oguyitibwa “Kwegatta”, okwegatta kwa Buyudaaya ne Yisirayeli ne kuggwaawo. |
| 15 |
| Awo Mukama n'aŋŋamba nti: “Ddamu okukola omulimu gw'obusumba. Naye ku mulundi guno, okole ng'omusumba atagasa, |
| 16 |
| kubanga nteekawo omusumba anaalundanga endiga, naye taalabirirenga ezo ezigenda okutuukibwako akabi, wadde okunoonya ezo ezibuze. Era tajjanjabenga ezo ezirwadde, wadde okuliisa ezo ennamu, wabula anaalyangamu ezo ezassava, era alizinuulako ebinuulo. |
| 17 |
| Zimusanze omusumba atagasa, ayabulira endiga! Ekitala kifumite omukono gwe, n'eriiso lye erya ddyo! Omukono gwe gukale, n'eriiso lye erya ddyo lizibire ddala!” |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/zechariah/011.mp3
14
11