Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Kino ky’ekigambo kya Katonda ekikwata ku Isirayiri. Bw’ati bw’ayogera Mukama eyabamba eggulu era n’assaawo emisingi gy’ensi, era n’akola n’omwoyo gw’omuntu ogumulimu. |
| 2 |
| “Laba ŋŋenda okufuula Yerusaalemi ekikompe ekitagaza amawanga gonna ageetoolodde enjuuyi zonna. Yuda awamu ne Yerusaalemi birizingizibwa. |
| 3 |
| Awo ku lunaku olwo ndifuula Yerusaalemi ejjinja erizitowa eri amawanga gonna, ag’ensi agalikuŋŋaana okukizingiza. Abo bonna abaligezaako okuliggyawo, balyetusaako ebisago. |
| 4 |
| Ku lunaku olwo, bw’ayogera Mukama, ndikuba buli mbalaasi na buli muvuzi waayo ndimusuula eddalu. Ndikuuma ennyumba ya Yuda kyokka amaaso g’embalaasi za bannaggwanga ndigaziba. |
| 5 |
| Awo abakulembeze ba Yuda baligamba mu mitima gyabwe nti, ‘Abantu b’omu Yerusaalemi ba maanyi, kubanga Mukama Katonda ow’Eggye ye Katonda waabwe.’ |
| 6 |
| “Ku lunaku olwo ndifuula abakulembeze ya Yuda ng’ogusigiri ogwaka ogwetooloddwa enku, ng’olumuli olw’omuliro mu makkati g’ebinywa. Balimalawo amawanga gonna ag’oku njuyi zonna, olw’oku kkono n’olw’oku ddyo; naye Yerusaalemi kirisigalawo, n’abantu baakyo mu kifo kyakyo awatali kunyeenyezebwa. |
| 7 |
| “ Mukama alisooka kununula weema za Yuda, ekitiibwa ky’ennyumba ya Dawudi, n’ekitiibwa ky’abatuuze b’omu Yerusaalemi kireme kusukka ku kya Yuda. |
| 8 |
| Ku lunaku olwo Mukama aliteeka obukuumi ku batuuze b’omu Yerusaalemi; abo abasembayo obunafu ku lunaku olwo babeere nga Dawudi, era ennyumba ya Dawudi ebeere ng’ennyumba ya Katonda, nga malayika wa Mukama abakulembeddemu. |
| 9 |
| Ku lunaku olwo ndizikiriza amawanga gonna agalumba Yerusaalemi. |
| 10 |
| “Era ndifuka ku nnyumba ya Dawudi era ku batuuze ba Yerusaalemi Omwoyo ow’ekisa n’okwegayirira. Balintunuulira nze gwe baafumita: era balimukungubagira ng’omuntu bw’akungubagira omwana we omu yekka, era balimulumirwa nnyo omwoyo ng’omuntu bw’alumirwa mutabani we omubereberye. |
| 11 |
| Ku lunaku olwo okukuba ebiwoobe kuliyitirira mu Yerusaalemi okwenkana ng’okwa Kadadulimmoni mu kiwonvu Megiddoni. |
| 12 |
| Ensi erikungubaga, buli kika kyokka; ekika eky’ennyumba ya Dawudi ne bakazi baabwe kyokka, n’ekika ky’ennyumba ya Nasani ne bakazi baabwe bokka; |
| 13 |
| Ekika eky’ennyumba ya Leevi ne bakazi baabwe, n’ekika kya Simeeyi ne bakazi baabwe; |
| 14 |
| n’ebika byonna ebirala ebisigaddeyo ne bakazi baabwe. |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/zechariah/012.mp3
14
12