Ku lunaku luli, bw'ayogera Mukama, ndisamaaliriza buli mbalaasi, n'oyo agyebagadde ndimulalusa: ndizibula amaaso gange ku nnyumba ya Yuda, era ndiziba amaaso ga buli mbalaasi y'amawanga.
Ku lunaku luli ndifuula abaami ba Yuda ng'olubumbiro oluliko omuliro wakati mu kibira, era ng'omumuli ogw'omuliro oguli mu binywa by'eŋŋaano; nabo balimalawo amawanga gonna enjuyi zonna, ku mukono ogwa ddyo n'ogwa kkono, oliboolyawo Yerusaalemi kirisigalawo, mu kifo kyakyo, mu Yerusaalemi.
Era Mukama alisooka okulokola eweema za Yuda, ekitiibwa ky'ennyumba ya Dawudi n'ekitiibwa ky'abo abali mu Yerusaalemi kireme okugulumira okusinga Yuda.
Ku lunaku luli Mukama alizibira abali mu Yerusaalemi; aliba omunafu ku bo ku lunaku luli alibeera nga Dawudi; era ennyumba ya Dawudi eriba nga Katonda, nga malayika wa Mukama ali mu maaso gaabwe.
Era ndifuka ku nnyumba ya Dawudi ne ku abo abali mu Yerusaalemi omwoyo ogw'ekisa n'ogw'okwegayirira; era balitunuulira nze gwe baafumita, era balimukubira ebiwoobe ng'omuntu bw'akubira ebiwoobe omwana we omu yekka, era balimulumirwa omwoyo ng'omuntu bw'alumirwa omwana we omubereberye.
Era ensi erikuba ebiwoobe, buli kika kyokka; ekika eky'ennyumba ya Dawudi, kyokka; ne bakazi baabwe bokka; ekika eky'ennyumba ya Nasani kyokka, ne bakazi baabwe bokka;