Luganda Bible
|
| 1 |
| Ku lunaku luli oluzzi luliggulirwa ennyumba ya Dawudi n'abo abali mu Yerusaalemi olw'ebibi n'olw'empitambi. |
| 2 |
| Awo olulituuka ku lunaku luli, bw’ayogera Mukama w'eggye, ndiggyamu amannya ag'ebifaananyi mu nsi, so tegalijjukirwa nate: era ate ndiviisa mu nsi bannabbi n'omwoyo ogutali mulongoofu. |
| 3 |
| Awo olulituula omuntu ng'akyagenda okulagula kale kitaawe ne nnyina abaamuzaala balimugamba nti Tolibeera mulamu; kubanga oyogerera obulimba mu linnya lya Mukama: awo kitaawe ne nnyina abaamuzaala balimufumita bw'alagula. |
| 4 |
| Awo olulituuka ku lunaku luli bannabbi balikwatirwa ensonyi buli muntu okwolesebwa kwe ng'alagula; so tebalyambala kyambalo eky'ebyoya balyoke balimbe: |
| 5 |
| naye alyogera nti Siri nnabbi nze, ndi mulimi wa ttaka nze; kubanga bantunda okuva mu buto bwange. |
| 6 |
| N'omu alimugamba nti Ebiwundu ebiri wakati w'emikono gyo biki? Awo aliddamu nti Bye nnafumitirwa mu nnyumba ya mikwano gyange. |
| 7 |
| Golokoka, ggwe ekitala, okulwana n'omusumba wange, n'omuntu, ye munnange, bw'ayogera Mukama w'eggye: tema omusumba n'endiga zirisaasaana; nange ndissaako omukono gwange ku bato. |
| 8 |
| Awo olulituuka mu nsi yonna bw'ayogera Mukama, ebitundu byayo bibiri birizikirira birifa; naye eky'okusatu kirirekebwa omwo. |
| 9 |
| N'ekitundu eky'okusatu ndikiyisa mu muliro, era ndibalongoosa ng'effeeza bw'erongoosebwa, era ndibakema nga zaabu bw'ekemebwa: balikaabirira erinnya lyange, nange ndibawulira: ndyogera nti Be bantu bange; nabo balyogera nti Mukama ye Katonda wange. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/zechariah/013.mp3
14
13