EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
|
| 1 |
| “Ku lunaku luli oluzzi luliggulirwa ennyumba ya Dawudi n'abo abali mu Yerusaalemi okubatukuza mu ebibi n'obutali butuukirivu bwabwe. |
| 2 |
| Awo olulituuka ku lunaku luli, bw'ayogera Mukama w'eggye, ndiggyamu amannya ag'ebifaananyi mu nsi, so tegalijjukirwa nate, era ate ndigya mu nsi bannabbi n'omwoyo ogutali mulongoofu. |
| 3 |
| Awo olulituuka omuntu yenna bwa lyefuula nnabbi, kale kitaawe ne nnyina abaamuzaala balimugamba nti, ‘Oteekwa kufa kubanga oyogera eby'obulimba mu linnya lya Mukama.’ Awo kitaawe ne nnyina abaamuzaala balimufumita ng'alagula. |
| 4 |
| Awo olulituuka ku lunaku luli buli nnabbi alikwatibwa ensonyi olw'okwolesebwa kwe okw'obulimba; so tebalyambala kyambalo kyabwe eky'ebyoya okulimba abantu. |
| 5 |
| Naye alyogera nti, ‘Siri nnabbi nze, ndi mulimi wa ttaka, kubanga ettaka kye ky'obugagga bwange okuva mu buto bwange.’ |
| 6 |
| N'omu bw'alimubuuza nti, ‘Ebiwundu ebiri ku mubiri gwo byaki?’ Awo aliddamu nti, ‘Nnabifunira mu nnyumba ya mikwano gyange.’ ” |
| 7 |
| “Golokoka, ggwe ekitala, okulwana n'omusumba wange, olwane n'omusajja annyimirira ku lusegere,” bw'ayogera Mukama w'eggye, tema omusumba, n'endiga zirisaasaana; nange ndissaako omukono gwange ku bato. |
| 8 |
| “Awo olulituuka mu nsi yonna, bw'ayogera Mukama, ebitundu byayo bibiri birizikirira birifa; naye eky'okusatu kirirekebwa omwo. |
| 9 |
| N'ekitundu eky'okusatu ndikiyisa mu muliro, era ndibalongoosa ng'effeeza bw'erongoosebwa, era ndi bakema nga zaabu bw'ekemebwa; balikaabirira erinnya lyange, nange ndibawulira; ndyogera nti, ‘Be bantu bange;’ nabo balyogera nti, ‘Mukama ye Katonda wange.’ ” |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandalbr/zechariah/013.mp3
14
13