Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Awo Mukama n'andaga Yoswa Ssaabakabona, ng'ayimiridde mu maaso ga malayika wa Mukama. Ku ludda lwa Yoswa olwa ddyo waali wayimiriddewo Sitaani, nga yeetegese okulumiriza Yoswa. |
| 2 |
| Malayika wa Mukama n'agamba Sitaani nti: “Mukama akunenye, ggwe Sitaani! Ddala, Mukama eyeerobozezza Yerusaalemu akunenye! Omuntu ono ali ng'omumuli oguggyiddwa mu muliro.” |
| 3 |
| Yoswa yali ayambadde ebyambalo ebijama, ng'ayimiridde mu maaso ga malayika. |
| 4 |
| Malayika n'agamba abo abaali bayimiridde mu maaso ge nti: “Mumwambulemu ebyambalo ebijama.” Awo n'agamba Yoswa nti: “Nkuggyeeko ekibi kyo, era nja kukwambaza ebyambalo ebyekitiibwa.” |
| 5 |
| N'alagira nti: “Mumutikkire ku mutwe ekiremba ekitukula.” Awo ne bamutikkira ku mutwe ekiremba ekitukula, era ne bamwambaza ebyambalo nga malayika wa Mukama ayimiridde awo. |
| 6 |
| Awo malayika wa Mukama n'akuutira nnyo Yoswa nti: |
| 7 |
| “Bw'onookwatanga amateeka gange, era n'otuukirizanga bye nkulagira okukola, olwo ojja kwongera okulabiriranga Essinzizo lyange n'empya zaalyo, era nnaakukkirizanga okusembera we ndi mu ngeri ye emu nga bano abayimiridde wano. |
| 8 |
| Kale ggwe Yoswa Ssaabakabona, wulira. Era nammwe bakabona banne muwulire: mmwe kabonero ak'ebiseera eby'omu maaso ebirungi. Ndireeta omuweereza wange ayitibwa Ttabi. |
| 9 |
| Laba nteeka mu maaso ga Yoswa ejjinja limu nga lya njuyi musanvu. Ku lyo nja kwolako ekiwandiiko, era ndiggyawo ekibi ky'ensi eno mu lunaku lumu. |
| 10 |
| Okuva ku lunaku olwo, buli omu mu mmwe anaayitanga munne okujja basanyukireko wamu, nga bali wansi w'omuzabbibu oba wansi w'omutiini.” |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/zechariah/003.mp3
14
3