Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Awo n’anjolesa Yoswa, kabona asinga obukulu, ng’ayimiridde mu maaso ga malayika wa Mukama, ne Setaani ng’ayimiridde ku mukono gwe ogwa ddyo okumulumiriza. |
| 2 |
| Mukama n’agamba Setaani nti, “ Mukama akunenye ggwe Setaani, weewaawo Mukama eyeerondedde Yerusaalemi akunenye! Omusajja ono si kisiki ekyaka ekigibbwa mu muliro?” |
| 3 |
| Awo Yoswa yali ayimiridde mu maaso ga malayika ng’ayambadde ebyambalo ebijjudde ekko. |
| 4 |
| Malayika n’agamba abaali bayimiridde mu maaso ge nti, “Mumwambulemu ebyambalo bye ebijjudde ekko.” N’agamba Yoswa nti, “Laba nkuggyeeko ekibi kyo, era nnaakwambaza ebyambalo eby’omuwendo.” |
| 5 |
| Ne njogera nti, “Mumusibe ekiremba ekitukula ku mutwe gwe.” Awo ne bamusiba ekiremba ekitukula ku mutwe, ne bamwambaza n’engoye, nga malayika wa Mukama ayimiridde awo. |
| 6 |
| Malayika wa Mukama n’akuutira nnyo Yoswa ng’ayogera nti, |
| 7 |
| “Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, ‘Bw’onootambuliranga mu makubo gange, era noonywezanga bye nkukuutira, kale, onoofuganga ennyumba yange era onoolamulanga mu mbuga zange, era ndikuwa ekifo obeere mu abo abayimiridde wano. |
| 8 |
| “ ‘Kale wulira, Yoswa kabona asinga obukulu, ggwe ne banno abatuula mu maaso go, abantu kw’otegeerera eby’omu maaso, laba ndireeta omuweereza wange, ye Ttabi. |
| 9 |
| Kubanga laba, ku jjinja lye ntadde mu maaso ga Yoswa, ku jjinja erimu eririna amaaso omusanvu, laba nditeekako ebiwandiiko,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye. ‘Mu lunaku lumu ndiggyawo ekibi ky’ensi eno. |
| 10 |
| “ ‘Ku lunaku luli, buli omu ku mmwe, aliyita muliraanwa we okutuulako wansi w’omuzabbibu gwe ne wansi w’omutiini gwe,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye.” |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/zechariah/003.mp3
14
3