EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
|
| 1 |
| N'anjolesa Yosuwa, kabona asinga obukulu, ng'ayimiridde mu maaso ga malayika wa Mukama, ne Setaani ng'ayimiridde ku mukono gwe ogwa ddyo abe omulabe we. |
| 2 |
| Mukama n'agamba Setaani nti, “Mukama akunenye, ggwe Setaani; weewaawo, Mukama eyeerobozezza Yerusaalemi akunenye, oyo si kisiriiza ekikwakkulibwa mu muliro?” |
| 3 |
| Era Yosuwa yali ayambadde engoye ez'ekko n'ayimirira mu maaso ga malayika. |
| 4 |
| N'addamu n'agamba abo abaali bayimiridde mu maaso ge, n'ayogera nti. “Mumwambulemu engoye ez'ekko.” N'agamba Yosuwa nti, “Laba, nkuggyeeko obubi bwo; nange nnaakwambaza ebyambalo eby'omuwendo.” |
| 5 |
| Ne njogera nti, “ Bamusibe ku mutwe gwe ekiremba ekitukula. Awo ne bamusiba ku mutwe gwe ekiremba ekitukula ne bamwambaza engoye;” malayika wa Mukama n'ayimirira awo. |
| 6 |
| Malayika wa Mukama n'alabula nnyo Yosuwa, ng'ayogera nti, |
| 7 |
| “Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, Bw'onootambuliranga mu makubo gange, era bye nkukuutira bw'onoobinywezanga, kale naawe ennyumba yange onoogisaliranga omusango, n'empya zange onoozikuumanga, era ndikuwa ekifo obeere mu abo abayimiridde wano. |
| 8 |
| Kale, wulira, Yosuwa kabona asinga obukulu, ggwe ne banno abatuula mu maaso go; kubanga be bantu ab'akabonero bano; kubanga, laba, ndireeta omuddu wange ayitibwa Ttabi. |
| 9 |
| Kubanga, laba, ejjinja lye nteese mu maaso ga Yosuwa; ku jjinja limu kuliko amaaso musanvu; laba, ndyolako enjola zaalyo, bw'ayogera Mukama w'eggye; ndiggyamu obubi mu nsi eyo ku lunaku lumu. |
| 10 |
| Ku lunaku luli, bw'ayogera Mukama w'eggye, munaayitanga buli muntu munne okujja wansi w'omuzabbibu ne wansi w'omutiini.” |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandalbr/zechariah/003.mp3
14
3