Luganda Bible
|
| 1 |
| Era nate ne nnyimusa amaaso gange ne ntunuulira; era, laba, omuzingo gw'ekitabo ogubuuka. |
| 2 |
| N'aŋŋamba nti Olabye ki ggwe? Ne nziramu nti Ndabye omuzingo gw'ekitabo ogubuuka; obuwanvu bwagwo emikono abiri n'obugazi bwagwo emikono kkumi. |
| 3 |
| N'aŋŋamba nti Ekyo kye kikolimo ekifuluma okubunya ensi yonna: kubanga ng'ekyo bwe kiri, buli abba aligobwamu ku luuyi lwayo olumu; era ng'ekyo bwe kiri, buli alayira aligobwamu ku luuyi lwayo olulala. |
| 4 |
| Ndikifulumya, bw'ayogera Mukama w'eggye; era kiriyingira mu nnyumba y'omubbi ne mu nnyumba y'oyo alayira erinnya lyange obulimba; era kirisula mu nnyumba ye wakati, era kirigizikiriza n'emiti gyayo n'amayinja gaayo. |
| 5 |
| Malayika eyali ayogera nange n'ajja n'aŋŋamba nti Kale yimusa amaaso go, olabe kino ekifuluma bwe kiri. |
| 6 |
| Ne njogera nti Ekyo kiki? N'ayogera nti Ekyo ye efa efuluma. Era n'ayogera nti Amaaso gaabwe bwe gali bwe gatyo ku nsi yonna; |
| 7 |
| (era, laba, ettalanta ey'essasi yasitulibwa;) n'oyo ye mukazi ng'atuula munda wa efa. |
| 8 |
| N'ayogera nti Ono bwe Bubi; n'amusuula wansi munda mu efa: n'ateeka omusinga gw'essasi ku kamwa kaayo. |
| 9 |
| Awo ne nnyimusa amaaso gange ne ntunula; era, laba, abakazi ababiri ne bafuluma, empewo nga ziri mu biwaawaatiro byabwe; era baalina ebiwaawaatiro ng'ebiwaawaatiro ebya kasida; ne basitula efa mu bbanga ly'ensi n'eggulu. |
| 10 |
| Ne ŋŋamba malayika eyali ayogera nange nti Abo efa bagitwala wa? |
| 11 |
| N'aŋŋamba nti Okumuzimbira ennyumba mu nsi ya Sinaali; nayo bw'eriggwa, aliteekebwa eyo mu kifo kye ye. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/zechariah/005.mp3
14
5