BIBULIYA ENTUKUVU
|
| 1 |
| Bwe natunula era ne ndaba: waaliwo omuzingo ogubuuka mu bbanga. |
| 2 |
| N'aŋŋamba nti: “Olaba ki?” Ne ŋŋamba nti: “Ndaba omuzingo ogubuuka mu bbanga, nga gwa mikono amakumi abiri obuwanvu n'emikono kkumi obugazi.” |
| 3 |
| N'aŋŋamba nti: “Ekyo kye kikolimo ekigenda kibuna mu nsi yonna; kuba, nga bwe kigambye, buli mubbi wa kwerawo, era nga bwe kigambye, buli alayira eby'obulimba naye wa kwerawo. |
| 4 |
| Nzija kukisindika, Omukama w'Amagye y'agamba, kijja kuyingira mu nnyumba y'omubbi ne mu y'oyo alayira mu linnya lyange eby'obulimba. Kijja kusigala mu nnyumba ye kigizikirize, na byombi embaawo zaakyo n'amayinja gaakyo.” |
| 5 |
| Awo malayika eyali ayogera nange n'afuluma, n'aŋŋamba nti: “Yimusa amaaso go olabe. Kiki ekyo ekiyitawo?” |
| 6 |
| Ne ŋŋamba nti: “Kiki ekyo?” N'aŋŋamba nti: “Kisero kye kiyitawo.” N'agamba nti: “Kino kye kibi kyabwe mu nsi yonna.” |
| 7 |
| Awo ekisaanikirako eky'essasi ne kibikkulibwa; munda mu kisero mwalimu omukazi ng'atudde. |
| 8 |
| N'agamba nti: “Ono bwe buseegu!” N'amusindika n'addayo munda, n'asaanikira n'amaanyi ekiyinja eky'essasi ku kamwa kaakyo. |
| 9 |
| Ne nsitula amaaso ne ndaba: waaliwo abakazi babiri nga bafuluma, ebiwaawaatiro byabwe nga bisitulwa empewo. Ebiwaawaatiro byabwe nga bifaanana ng'ebya ssekanyolya, ne basitula ekisero wakati w'ensi n'eggulu. |
| 10 |
| Ne mbuuza malayika eyali ayogera nange nti: “Bano ekisero bakitwala wa?” |
| 11 |
| N'aŋŋamba nti: “Mu nsi ya Sinari bakizimbire ennyumba. Bw'eriba emaliriziddwa, ekisero balikitereeza eyo mu kifo kyakyo.” |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandabibu1/zechariah/005.mp3
14
5