EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
|
| 1 |
| Era nate ne nnyimusa amaaso gange ne ndaba, laba, omuzingo gw'ekitabo ogubuuka mu bbanga. |
| 2 |
| N'aŋŋamba nti, “ Kiki ky'olaba?” Ne nziramu nti, “Ndabye omuzingo gw'ekitabo ogubuuka mu bbanga, obuwanvu bwagwo emikono abiri n'obugazi bwagwo emikono kkumi (10).” |
| 3 |
| N'aŋŋamba nti, “Ekyo kye kikolimo ekizze okubuna ensi yonna, kubanga ng'ekyo bwe kiri, buli abba aliggibwawo era buli alayira eby'obulimba aliggibwawo bamulaze ku luuyi olulala. |
| 4 |
| Ndikifulumya, bw'ayogera Mukama w'eggye; era kiriyingira mu nnyumba y'omubbi ne mu nnyumba y'oyo alayira obwereere erinnya lyange, era kirisula mu nnyumba ye wakati, era kirigizikiriza n'emiti gyayo n'amayinja gaayo.” |
| 5 |
| Malayika eyali ayogera nange n'ajja n'aŋŋamba nti, “Kale yimusa amaaso go, olabe ekirala ekijja.” |
| 6 |
| Nemubuuza nti, “Ekyo kiki?” N'anziramu nti, “Ekyo kye kifaananyi ekiraga ekibi ekibunye ensi yonna.” |
| 7 |
| Awo ekibikka kyakyo, ekyuma eky'essasi ne kibikkulwa era ne ndaba omukazi ng'akituddemu. |
| 8 |
| N'aŋŋamba nti, “Ono bwe Bubi.” N'amusindika n'amuzzamu munda mu kisero, n'aggalawo omumwa gwakyo n'ekisaanikira eky'ekyuma eky'essasi. |
| 9 |
| Awo ne nnyimusa amaaso gange ne ntunula; era, laba, abakazi ababiri ne bafuluma, empewo nga ziri mu biwaawaatiro byabwe; era baalina ebiwaawaatiro ng'ebiwaawaatiro ebya kasida; ne basitula ekisero mu bbanga ly'ensi n'eggulu. |
| 10 |
| Ne ŋŋamba malayika eyali ayogera nange nti, “Abo ekisero bakitwala wa?” |
| 11 |
| N'anziramu nti, “ Mu nsi ya Sinaali okumuzimbira ennyumba, nayo bw'eriggwa, aliteekebwa eyo mu kifo kye ye.” |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandalbr/zechariah/005.mp3
14
5