Bwe mutakkirize kuwulira era bwe mutakkirize kukissa ku mwoyo okuwa erinnya lyange ekitiibwa, bw'ayogera Mukama w'eggye, kale ndiweereza ku mmwe ekikolimo ekyo, era ndikolimira emikisa gyammwe: weewaawo, mmaze okugikolimira, kubanga temukissa ku mwoyo.
Nange kyenvudde mbafuula abanyoomebwa abataliimu ka buntu mu maaso g'abantu bonna, nga bwe mutakwata makubo gange naye ne mussaayo omwoyo eri amaaso g'abantu mu mateeka.
Yuda akuusizzakuusizza, era bakola eky'omuzizo mu Isiraeri ne mu Yerusaalemi: kubanga Yuda ayonoonye obutukuvu bwa Mukama bw'ayagala, era awasizza omuwala wa katonda omunnaggwanga.
Era na kino nakyo mukikola: mubikka ekyoto kya Mukama amaziga n'okukaaba n'okussa ebikkowe, n'okussaayo n'atassaayo nate mwoyo eri ekiweebwayo so takikkiriza mu mukono gwammwe ng'asiimye.
Mwakooya Mukama n'ebigambo byammwe. Era naye mwogera nti Twamukooya tutya? Kubanga mwogera nti Buli muntu akola obubi aba mulungi mu maaso ga Mukama, era abasanyukira; oba Katonda nnannyini musango ali ludda wa?