Naye ani ayinza okugumiikiriza olunaku olw'okujja kwe? era ani aliyimirira ye bw'alirabika? kubanga aliŋŋanga omuliro gw'oyo alongoosa effeeza, era nga sabbuuni ow'aboozi:
era alituula ng'oyo alongoosa effeeza n'agimalamu amasengere, era alirongoosa batabani ba Leevi, era alibasengejja ng'ezaabu n'effeeza; awo baliwaayo eri Mukama ebiweebwayo mu butuukirivu.
Okuva ku nnaku za bajjajjammwe nga mukyuka okukyama mu biragiro byange, so temubikwatanga: Mudde gye ndi, nange nadda gye muli, bw'ayogera Mukama w'eggye. Naye mwogera nt Tunadda tutya?
Muleete ekitundu eky'ekkumi ekiramba mu ggwanika, ennyumba yange ebeeremu emmere, era munkeme nakyo, bwayogera Mukama w'eggye, oba nga siribaggulirawo ebituli eby'omu ggulu, ne mbafukira omukisa, ne wataba na bbanga weguligya.
Era ndinenya omuli ku lwanmwe, so talizikiriza bibala bya ttaka lyammwe; so n'omuzabbibu gwanmwe tegulikunkumula bibala byagwo mu nnimiro entuuko nga tezinnatuuka, bw'ayogera Mukama w'eggye.
Mwayogera nti Okuweereza Katonda kwa bwereere: era kugasa ki nga tukutte ebyo bye yakuutira, era nga tutambulidde mu maaso ga Mukama w'eggye nga tutokooteredde?
Awo abo abaatya Mukama ne boogeragana bokka na bokka: Mukama n'awuliriza n'awulira, ekitabo eky'okujjukiza ne kibawandiikirwa mu maaso ge abo abaatya Mukama ne balowooza erinya lye.
Era baliba bange, bw’ayogera Mukama w'eggye, ku lunaku lwe ndikolerako, baliba kintu kya nvuma; era ndibasonyiwa ng'omusajja bw'asonyiwa mutabani we ye amuweereza.