Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Mukama Nnannyinimagye agamba nti: “Olunaku lujja, abo bonna abeekulumbaza era n'aboonoonyi lwe balyokebwa ng'ebisasiro. Ku lunaku olwo balyokebwa ne baggweerawo ddala, obutasigalawo wadde akatundu. |
| 2 |
| Naye mmwe abanzisaamu ekitiibwa, obuyinza bwange obulokola bulivaayo, ne bubaakira ng'enjuba erina amaanyi agawonya mu kwaka kwayo. Muliba ba ddembe, ne mubuukabuuka ng'ennyana eziyimbuddwa mu kisibo. |
| 3 |
| Ku lunaku lwe ndikolerako, muliwangula ababi, ne mubalinnyirira wansi w'ebigere byammwe, kubanga baliba bafuuse vvu. |
| 4 |
| “Mujjukire ebyo Musa omuweereza wange bye yabayigiriza: amateeka n'ebiragiro, bye namuweera ku Lusozi Horebu, abituuse ku Bayisirayeli bonna. |
| 5 |
| “Olunaku lwa Mukama olukulu era olw'entiisa nga terunnatuuka, ndibatumira Eliya omulanzi. |
| 6 |
| Alitabaganya bakitaabwe b'abaana n'abaana baabwe, nneme okujja okuzikiriza ensi yammwe.” |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/malachi/004.mp3
4
4