Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| “Kubanga, laba, olunaku lujja, lwokya ng’ekikoomi, n’ab’amalala bonna n’abo bonna abakola ebibi baliba bisasiro: ku lunaku lwennyini balyokerwa ddala,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye, “obutabalekerawo mulandira newaakubadde ettabi. |
| 2 |
| Naye mmwe abatya erinnya lyange, enjuba ey’obutuukirivu eribaviirayo ng’erina okuwonya mu biwaawaatiro byayo. Mulifuluma ne muligita ng’ennyana ez’omu kiraalo. |
| 3 |
| Era mulirinnya ku babi, kubanga baliba vvu wansi w’ebigere byammwe, ku lunaku lwe ndibalokolerako,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye. |
| 4 |
| “Mujjukire okugonderanga amateeka ga Musa omuddu wange, ebiragiro n’amateeka bye namukwasa ku Kolebu olwa Isirayiri yenna. |
| 5 |
| “Laba, ndibatumira nnabbi Eriya, olunaku lwa Mukama olukulu olw’entiisa nga terunnatuuka, |
| 6 |
| era alikomyawo omutima gwa bazadde eri abaana baabwe, n’omutima gw’abaana eri bazadde baabwe; nneme okukolimira ensi.” |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/malachi/004.mp3
4
4