EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
|
| 1 |
| “Kubanga, laba, olunaku lujja, lwokya ng'ekikoomi; n'ab'amalala bonna, n'abo bonna abakola obubi, baliba bisasiro; awo olunaku olujja lulibookera ddala,” bw'ayogera Mukama w'eggye, obutabalekerawo kikolo newakubadde ettabi. |
| 2 |
| Naye mmwe abatya erinnya lyange enjuba ey'obutuukirivu eribaviirayo ng'erina okuwonya mu biwaawaatiro byayo, kale mulifuluma ne muligita ng'ennyana ez'omu kisibo. |
| 3 |
| Era mulirinnyirira ababi, kubanga baliba vvu wansi w'ebigere byammwe, ku lunaku lwe ndikolerako, bw'ayogera Mukama w'eggye. |
| 4 |
| Mujjukire amateeka ga Musa omuddu wange, amateeka n'ebiragiro ge nnamulagiririra ku Kolebu, olwa Isiraeri yenna. |
| 5 |
| “Laba, ndibatumira Eriya nnabbi olunaku olukulu olw'entiisa olwa Mukama nga terunnaba kutuuka. |
| 6 |
| Era alikyusa omutima gwa bakitaabwe eri abaana, n'omutima gw'abaana eri bakitaabwe; nneme okujja ne nkuba ensi n'ekikolimo.” |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandalbr/malachi/004.mp3
4
4