Abantu ne baba nga beemulugunya, nga boogera bubi mu matu ga Mukama: Mukama bwe yabawulira obusungu bwe ne bubuubuuka; omuliro gwa Mukama ne gwokya mu bo, ne gulya ku nkomerero y'olusiisira.
Awo ekibiina eky'abasenze ekyali mu bo ne batanula okwegomba: n'abaana ba Isiraeri nabo ne bakaaba amaziga nate, ne bagamba nti Ani anaatuwa ennyama okulya?
Abantu ne batambulatambula, ne bagikuŋŋaanya ne bagiseera ku mmengo, oba ne bagisekulira mu binu, ne bagifumba mu ntamu, ne bagiggyamu emigaati: n'okuwooma kwayo kwaliŋŋanga okuwooma kw'amafuta amaggya.
Musa n'awulira abantu nga bakaaba amaziga mu nda zaabwe zonna, buli muntu ku mulyango gw'eweema ye: obusungu bwa Mukama ne bubuubuuka nnyo: Musa n'anyiiga.
Nange nakka ne njogerera naawe eyo: era naatoola ku mwoyo oguli ku ggwe, ne nguteeka ku bo; nabo banaasitulanga omugugu gw'abantu wamu naawe, olemenga okugusitula ggwe wekka.
Era gamba abantu nti Mwetukulize olunaku olw'enkya, era mulirya ennyama: kubanga mukaabidde amaziga mu matu ga Mukama nga mwogera nti Ani alituwa ennyama okulya? kubanga twali bulungi mu Misiri: Mukama kyaliva abawa ennyama, ne mulya.
naye mwezi mulamba, okutuusa lw'erifulumira mu nnyindo zammwe, ne muginyiwa: kubanga mugaanyi Mukama ali mu mmwe, ne mukaabira amaziga mu maaso ge nga mwogera nti Ekyatuggya ki mu Misiri?
Musa n'agamba nti Abantu be ndimu wakati, be basajja abatambula n'ebigere obusiriivu mukaaga: naye ogambye nti Ndibawa ennyama baliireko omwezi omulamba.
Mukama n'akkira mu kire n'ayogera naye, n'atoola ku mwoyo ogwali ku ye, n'aguteeka ku bakadde ensanvu: awo olwatuuka omwoyo bwe gwatuula ku bo ne balagula, naye ne bakomya awo.
Naye ne musigala mu lusiisira abasajja babiri, erinnya ly'omu Eridaadi, n'erinnya ly'omulala Medadi: omwoyo ne gutuula ku bo; era baali ku muwendo gw'abo abaawandiikibwa, naye baali tebafulumye okugenda ku Weema: ne balagulira mu lusiisira.
Empewo n'efuluma eri Mukama, n'ereeta obugubi okuva ku nnyanja, n'ebugwisa mu lusiisira, ng'olugendo olw'olunaku olumu ku luuyi luno, n'olugendo olw'olunaku olumu ku luuyi luli, okwetooloola olusiisira, ng'emikono ebiri okutuuka ku ttaka we bwali.
Abantu ne bagolokoka ne bazibya olunaku olwo, ne bakeesa obudde, ne bazibya obudde obw'enkya, ne bakuŋŋaanya obugubi: eyakuŋaanya obutono, yakuŋŋaanya komeri kkumi: ne babweyanikira wonna wonna okwetooloola olusiisira.
Ennyama bwe yali ng'ekyali wakati mu mannyo gaabwe, nga tebannaba kugigaaya, obusungu bwa Mukama ne bubuubuuka ku bantu, Mukama n'akuba abantu ekibonyoobonyo kinene nnyo.