1
Musa yawasa omukazi Mukuusi. Miriyamu ne Arooni ne boogera bubi ku Musa, nga bamulanga omukazi oyo.
2
Ne bagamba nti: “Mukama ayogera ng'ayita mu Musa yekka? Teyayogera ng'ayita ne mu ffe?” Mukama n'awulira kye boogedde.
3
Omusajja Musa yali mwetoowaze nnyo okusinga abantu abalala bonna ku nsi.
4
Amangwago Mukama n'ayogera ne Musa ne Arooni ne Miriyamu nti: “Mwensatule mugende ku Weema ey'Okunsisinkanirangamu.” Bonsatule ne bagenda.
5
Mukama n'akkira mu mpagi ey'ekire, n'ayimirira ku mulyango gw'Eweema, n'ayita Arooni ne Miriyamu. Bombi ne bagenda.
6
Mukama n'agamba nti: “Muwulire kye ŋŋamba. Bwe wabaawo omulanzi mu mmwe, Nze Mukama mmweyolekera mu kulabikirwa, era njogera naye mu birooto.
7
Naye ku muweereza wange Musa, si bwe kiri. Sirina kye mmukisa, kubanga mwesigwa.
8
Ye njogera naye nga tutunuuliganye maaso na maaso, era butereevu sso si mu ngero. Era ye yali alabye ne bwe nfaanana. Kale muyinza mutya obutatya kwogera bubi ku muweereza wange oyo Musa?”
9
Awo Mukama n'abasunguwalira, era n'avaawo.
10
Ekire ne kiva ku Weema. Okutemya n'okuzibula, Miriyamu n'alwalirawo endwadde y'olususu etiisa, n'ayeruka ng'omuzira. Arooni bwe yakyuka n'atunula ku Miriyamu, n'alaba nga Miriyamu akwatiddwa endwadde y'olususu etiisa.
11
N'agamba Musa nti: “Ayi mukama wange, nkwegayiridde, ekibi ekyo kitusonyiwe. Bye tukoze bya busirusiru, era gutusinze.
12
Nkwegayiridde, ono tomuleka kuba nga muntu azaalibwa ng'afudde, n'omubiri gwe nga guvunzeeko ekitundu.”
13
Musa n'akaabirira Mukama nti: “Ayi Katonda, nkwegayiridde, muwonye!”
14
Mukama n'agamba Musa nti: “Singa kitaawe ye abadde amuwandidde amalusu mu maaso, teyandibadde n'obuswavu okumala ennaku musanvu? Kale aggalirwe ebweru w'olusiisira okumala ennaku musanvu, n'oluvannyuma balyoke bamukomyewo ayingire.”
15
Bw'atyo Miriyamu n'aggalirwa ebweru w'olusiisira okumala ennaku musanvu. Abantu ne batatambula okutuusa lwe baamukomyawo n'ayingira.
16
Olwo ne bava e Hazerooti, ne batambula, ne basiisira mu Ddungu ly'e Parani.
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.