era ensi bw'eri, oba nga ngimu oba nga nkalu, oba nga mulimu emiti oba nga temuli. Era mugume omwoyo, muleete ku bibala byamu. Era ebiro byali biro bya zabbibu ezisooka okweagera.
Ne bambukira obukiika obwa ddyo, ne batuuka e Kebbulooni; era Akimaani, Sesayi, ne Talumaayi, abaana ba Anaki, baali bali eyo. (Era Kebbulooni kyali kyakamaze emyaka musaavu okuzimbibwa, ne balyoka bazimba Zowani ekiri mu Misiri
Ne batuuka mu kiwonvu e Esukoli, ne batemayo ettabi eryaliko ekirimba kimu ekya zabbibu, ne bakisitulira ku musituliro abantu babiri; era baaleeta ne ku makomamawanga, ne ku ttiini.
Ne batuuka ne bajja eri Musa n'eri Alooni n'eri ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri, mu ddungu lya Palani, e Kadesi; ne babaddiza ebigambo bo n'ekibiina kyonna, ne babalaga ebibala by'ensi.
Ne baleeta ebigambo ebibi eby'ensi gye baali bakesse eri abaana ba Isiraeri nga boogera nti Ensi gye twayitamu okugiketta, nsi eriira ddala abagituulamu; n'abantu bonna be twalaba omwo basajja bawanvu nnyo.