N'oyo anaayoolanga evvu ly'ente anaayozanga engoye ze, n'aba atali mulongoofu okutuusa akawungeezi: era linaabanga eri abaana ba Isiraeri n'eri omugenyi atuula mu bo etteeka eritaliggwaawo.
oyo aneerongoosanga nago ku lunaku olw'okusatu, ne ku lunaku olw'omusanvu anaabanga mulongoofu: naye bw'anaalemanga okwerongoosa ku lunaku olw'okusatu, kale ku lunaku olw'omusanvu taabenga mulongoofu.
Buli anaakomanga ku mulambo gw'omuntu yenna afudde, n'ateerongoosa, ng'ayonoona ennyumba ya Mukama; n'obulamu obwo bunaazikirizibwanga mu Isiraeri: kubanga teyamansirwako mazzi ga kwawula, anaabanga atali mulongoofu; obutali bulongoofu bwe nga bukyali ku ye.
Na buli anaakomanga ku ttale ebweru ku muntu eyattibwa n'ekitala oba ku mulambo oba ku ggumba ly'omuntu oba ku malaalo anaabanga atali mulongoofu ennaku musanvu.
n'omuntu omulongoofu anaddiranga ezobu, n'aginnyika mu mazzi, n'agamansira ku weema, ne ku bintu byonna, ne ku bantu abaalimu, ne ku oyo eyakoma ku ggumba oba ku oyo eyattibwa oba ku mufu oba ku malaalo:
n'omulongoofu oyo anaamansiranga ku atali mulongoofu ku lunaku olw'okusatu ne ku lunaku olw'omusanvu: ne ku lunaku olw'omusanvu anaamulongoosanga; awo anaayozanga engoye ze, n'anaaba mu mazzi, n'aba mulongoofu akawungeezi.
Naye omuntu anaabanga atali mulongoofu n'ateerongoosa, obulamu obwo bunaazikirizibwanga wakati mu kibiina, kubanga ayonoonye awatukuvu wa Mukama: amazzi ag'okwawula tegamansiddwa ku ye; si mulongoofu.