Abaana ba Isiraeri banaasiisiranga buli muntu okuliraana n'ebendera ye, awali obubonero bw'ennyumba za bakitaabwe: banaasiisiranga okwolekera eweema ey'okusisinkanirangamu enjuyi zonna.
Era abo abasiisira ku luuyi olw'ebuvanjuba okutunuulira enjuba gy'eva banaabanga ba bendera ya lusiisira lwa Yuda, ng'eggye lyabwe bwe liri: era Nakusoni mutabani wa Amminadaabu ye anaabanga omukulu w'abaana ba Yuda.
Ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo we wanaabanga ebendera ey'olusiisira lwa Lewubeeni ng'eggye lyabwe bwe liri: era Erizuuli mutabani wa Sedewuli ye anaabanga omukulu w'abaana ba Lewubeeni.
Bonna abaabalibwa ku lusiisira lwa Lewubeeni baali kasiriivu mu obukumi butaano mu lukumi mu bina mu ataano, ng'eggye lyabwe bwe lyali. Be banaddiriranga bali okusitula.
Eweema ey'okusisinkanirangamu n'eryoka etambulanga, wamu n'olusiisira lw'Abaleevi wakati mu nsiisira; nga bwe basiisira, bwe banaasitulanga bwe batyo, buli muntu mu kifo kye, awali ebendera zaabwe.
Ku luuyi olw'ebugwanjuba we wanaabanga ebendera ey'olusiisira lwa Efulayimu ng'eggye lyabwe bwe lizi: era Erisaama mutabani wa Amaiikudi ye anaabanga omukulu w'abaana ba Efulayimu.
Ku luuyi olw'obukiika obwa kkono we wanaabanga ebendera ey'olusiisira lwa Ddaani ng'eggye lyabwe bwe liri: era Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi ye anaabanga omukulu w'abaana ba Ddaani.
Abo be baabalibwa ku baana ba Isiraeri ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali: bonna abaabalibwa ku nsiisira ng'eggye lyabwe bwe lyali baali obusiriivu mukaaga mu enkumi ssatu mu bitaano mu ataano.