“Abaana ba Isirayiri banaasiisiranga okwebungulula Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, nga bagyesuddeko akabanga naye nga bagyolekedde. Buli musajja anaawanikanga ebendera ye n’ebendera z’empya za bajjajjaabwe.”
Ebibinja by’olusiisira lwa Yuda binaasiisiranga ku ludda olw’enjuba gy’eva ne basimba awo ebendera yaabwe. Omukulembeze w’abantu ba Yuda ye Nakusoni mutabani wa Amminadaabu.
Abasajja bonna abaali mu lusiisira lwa Yuda abaabalibwa ng’ebibinja by’amaggye gaabwe bwe byali baali emitwalo kkumi na munaana mu kakaaga mu ebikumi bina (186,400). Be banaakulemberanga.
Ku ludda olw’obukiikaddyo ebibinja eby’amaggye g’omu kika kya Lewubeeni gye banaasiisiranga, nga basimbye eyo n’ebendera yaabwe. Omukulembeze w’abantu ba Lewubeeni ye Erizuuli mutabani wa Sedewuli.
Ku ludda olw’ebugwanjuba y’eneebeeranga olusiisira lw’ebibinja bya Efulayimu nga bakutte n’ebendera zaabwe. Omukulembeze w’abantu ba Efulayimu ye Erisaama mutabani wa Ammikudi.
Ku ludda olw’obukiikakkono y’eneebeeranga olusiisira lw’ebibinja bya Ddaani n’ebendera yaabwe. Omukulembeze w’abantu ba Ddaani ye Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi.
Abaana ba Isirayiri bwe batyo ne bakola ebyo byonna Mukama Katonda bye yalagira Musa. Bwe batyo bwe baasiisiranga ensiisira zaabwe ng’ebendera zaabwe bwe zaali, era bwe batyo bwe baasitulanga okutambula buli bantu mu bika byabwe ne mu mpya za bajjajjaabwe.