N'Omukanani, kabaka w’e Yaladi, eyatuulanga mu bukiika obwa ddyo, n'awulira nga Isiraeri ajja mu kkubo lya Asalimu; n'alwana ne Isiraeri n'awamba abamu ku bo.
Ne basitula okuva ku lusozi Koola ne bagenda mu kkubo ery'Ennyanja Emmyufu, okwetooloola ensi ya Edomu: obulamu bw'abantu ne bukeŋŋentererwa nnyo olw'olugendo.
Abantu ne boogera bubi ku Katonda ne ku Musa, nti Mwatuggira ki mu Misiri okutulinnyisa okufiira mu ddungu? kubanga tewali kyakulya, so tewali mazzi; n'obulamu bwaffe butamiddwa ekyokulya kino ekyangu.
Ne bavaayo ne batambula ne basiisira emitala wa Alunoni, oguli mu ddungu, ogusibuka mu nsalo y'Abamooli: kubanga Alunoni ye nsalo ya Mowaabu, wakati wa Mowaabu n'Abamooli.
Oluzzi abakulu lwe baasima, Abakungu b'abantu lwe baayerula, N'omuggo ogw'obwakabaka, n'emiggo gyabwe. Ne bava mu ddungu ne batambula ne bagenda e Matana:
Ka mpite mu nsi yo: tetulikyamira mu nnimiro newakubadde mu lusuku lw'emizabbibu; tetulinywa ku mazzi ga nzizi: tulitambulira mu luguudo lwa kabaka, okutuusa lwe tuliyita mu nsalo yo.
Sikoni n'ataganya Isiraeri kuyita mu nsalo ye naye Sikoni n'akuŋŋaanya abantu be bonna, n'atabaala Isiraeri mu ddungu, n'atuuka e Yakazi: n'alwana ne Isiraeri.
Isiraeri n'amukuba n'obwogi bw'ekitala, n'alya ensi ye okuva ku Alunoni okutuuka ku Yaboki, okutuuka ku baana ba Amotu: kubanga ensalo ey'abaana ba Amoni yali ya maanyi.
Kubanga Kesuboni kyali kibuga kya Sikoni kabaka w'Abamoli, eyalwana ne kabaka wa Mowaabu eyasooka, n'aggya mu mukono gwe ensi yonna, okutuuka ku Alunoni.
Mukama n'agamba Musa nti Tomutya: kubanga mmugabudde mu mukono gwo, n'abantu be bonna, n'ensi ye; era olimukola nga bwe wakola Sikoni kabaka w'Abamoli, eyatuulanga e Kesuboni.