Mowaabu n'agamba abakadde ba Midiyaani nti Kaakano ekibiina kino kigenda kukombera ddala byonna ebitwetoolodde, ng'ente bw'ekomba omuddo ogw'oku ttale. Era Balaki mutabani wa Zipoli ye yali kabaka wa Mowaabu mu biro ebyo.
N’atuma ababaka eri Balamu mutabani wa Byoli, e Pesoli, ekiri ku lubalama lw'Omugga, mu nsi y'abaana b'abantu be, okumuyita ng'ayogera nti Laba, waliwo abantu abaava mu Misiri: laba, basaanikidde ku maaso g'ensi, era batudde okunjolekera:
Ne bajja eri Balamu ne bamugamba nti Bw'atyo bw'ayogera Balaki mutabani wa Zipoli nti Waleme okubaawo ekintu, nkwegayiridde, ekinaakuziyiza okujja gye ndi:
Balamu n’addamu n’agamba abaddu ba Balaki nti Balaki bw’alimpa ennyumba ye ng’ejjudde effeeza ne zaabu, siyinza kuyita ku kigambo kya Mukama Katonda wange, okukendeezaako oba okusukkiriza.
Obusungu bwa Katonda ne bubuubuuka kubanga yagenda: malayika wa Mukama n'ayimirira mu kkubo okumuziyiza. Era yali yeebagadde ku ndogoyi ye, n'abaddu be bombi baali naye.
Endogoyi n'eraba malayika wa Mukama ng'ayimiridde mu kkubo, ekitala kye nga kisowoddwa nga kiri mu ngalo ze: endogoyi n'ekyama okuva mu kkubo, n'egenda ku nsiko: Balamu n'akuba endogoyi okugizza mu kkubo.
Awo Mukama n'alyoka azibula amaaso ga Balamu, n'alaba malayika wa Mukama ng'ayimiridde mu kkubo, ekitala kye nga kisowoddwa nga kiri mu ngalo ze: n'akutama omutwe gwe, n'avuunama amaaso ge.
Malayika wa Mukama n'amugamba nti Okubidde ki endogoyi yo emirundi gino gyonsatule? laba, nfulumye okukuziyiza, kubanga okutambula kwo kukakanyavu mu maaso gange.