Awo n'atuma ababaka eri Balamu, mutabani wa Byoli, e Pesoli, ekiri ku lubalama lw'Omugga Fulaati, mu nsi ya Amawu, okumuyita ng'ayogera nti, “Laba, waliwo abantu abaava mu Misiri, ababuutikidde ensi, era batudde okunjolekera; mbekengedde nange bayinza okunnumba.
Awo abakulembeze ba Mowaabu n'aba Midiyaani ne bagenda eri Balamu, nga batutte kye banaamusasula olw'okukolima. Bwe baatuuka gy'ali, ne bamutegeeza ebyo Balaki bye yabatuma.
Balamu n'addamu n'agamba abaddu ba Balaki nti, “Balaki ne bweyalimpadde ennyumba ye ng'ejjudde effeeza ne zaabu, siyinza kuva ku kigambo kya Mukama Katonda wange, okukikendeezaako oba okukyongerako.
Obusungu bwa Katonda ne bubuubuuka kubanga Balamu yagenda. Awo Balamu bwe yali nga yeebagadde endogoyi ye, nga n'abaddu be babiri bali naye, Malayika wa Mukama n'ayimirira mu kkubo okumuziyiza.
Endogoyi, bwe yalaba Malayika wa Mukama ng'ayimiridde mu kkubo ng'akutte ekitala ekisowoddwa n'eva mu kkubo n'edda ku nsiko. Balamu n'akuba endogoyi okugizza mu kkubo eriyita mu kiwonvu, we lifundira, eriyita wakati mu nsuku z'emizabbibu nga ebbali n'ebbali eriyo ekisenge.
Era Malayika wa Mukama n'ayimirira mu kkubo we lifundira, eriyita mu kiwonvu, wakati mu nsuku ez'emizabbibu, eziriko enkomera ez'ebisenge eruuyi n'eruuyi.
Malayika wa Mukama ne yeeyongera okusembera mu maaso, n'ayimirira mu kifo eky'akanyigo ennyo, awatali bwe kyusizo ku mukono ogwa ddyo newakubadde ogwa kkono.
Awo Mukama n'alyoka azibula amaaso ga Balamu, n'alaba malayika wa Mukama ng'ayimiridde mu kkubo, ekitala kye nga kisowoddwa nga kiri mu ngalo ze. Balamu n'akutama, ne yeeyala ku ttaka nga yeevuunise.