Kale, laba, omusajja omu ku baana ba Isirayiri n’aleeta mu maka ge omukazi Omumidiyaani awo mu maaso ga Musa, nga n’ekibiina kyonna ekya Isirayiri bali awo bakaabira mu mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu.
n’agoberera Omuyisirayiri n’amutuusa mu weema. Bombi n’abafumita effumu ne liyita mu Muyisirayiri ne liggukira ne mu mubiri gw’omukazi, ne libayitamu bombi. Awo kawumpuli eyali alumbye abaana ba Isirayiri n’akoma.
“Finekaasi mutabani wa Eriyazaali, mutabani wa Alooni kabona, ankyusisizza obusungu bwange ne mbuggya ku baana ba Isirayiri; kubanga obusungu bwe bwabuubuuka nnyo ng’obwange olw’obutafaayo ku kitiibwa kyange, kyenvudde sibazikiriza kubamalawo.
Ye, ne bazzukulu be bonna banaabanga mu ndagaano ey’obwakabona obw’emirembe gyonna, kubanga yasunguwalira abaana ba Isirayiri olw’okutyoboola ekitiibwa kya Katonda we, n’abatangiririra.’ ”