×

BIBULIYA ENTUKUVU

Okubala 28

1
Omukama yagamba Musa nti:
2
“Yogera eri Abayisirayeli obawe ekiragiro kino nti: ‘Ekitambiro kyange, ekyokulya kyange ekiwonge n'omuliro, akawoowo akansanyusa, mukiweerezanga mu budde bwakyo.’
3
Bagambe nti: ‘Bino bye bitone ebiwonge n'omuliro bye munaawerezanga Omukama: “ ‘Buli lunaku muweerezanga obuliga bubiri obulume, obw'omwaka ogumu obutaliiko kamogo. Kino kye kitambiro ekyokye ekya bulijjo.
4
Akaliga akamu mukaweerezanga ku makya akookubiri akawungeezi.
5
Muweererezangako ekitone eky'obuwunga obukuŋŋunte obulungi obuweza ekyekkumi ekya efa, nga mutabuddwamu omuzigo ogukamuliddwa mu oliva oguweza ekyokuna ekya yini.
6
Kye kitambiro ekyokye ekya bulijjo nga bwe kyalagirwa ku lusozi Sinayi, akawoowo akasanyusa, ekitone ekiwongere Omukama n'omuliro.
7
Ku buli kaliga kunaagenderangako ekitone eky'okuyiwa eky'omwenge ekiweza ekyokuna ekya yini. Evviini ey'ekitone eky'okuyiwa mugiyiyiranga Omukama mu Kifo Ekitukuvu
8
Akaliga akookubiri mukaweerezanga akawungeezi, nga bwe mwakoze ku makya, wamu n'ekitone eky'obuwunga ko n'ekitone kyakyo eky'okuyiwa. Kino kye kitambiro ekiwonge n'omuliro, akawoowo akasanyusa Omukama.
9
“ ‘Ku lunaku olwa Sabbaato muweerezanga obuliga obulume bubiri obw'omwaka ogumu obutaliiko kamogo, ko n'ebyekkumi bibiri ebya efa eby'obuwunga obukuŋŋunte obulungi omutabuddwa omuzigo, ng'ekitone kyakyo eky'obuwunga n'ekitone kyakyo eky'okuyiwa.
10
Kino kye kitambiro kya Sabbaato ekyokye ku buli Sabbaato. Kino kyongereza ku kitambiro ekyokye ekya bulijjo n'ekitone kyakyo eky'okuyiwa.
11
“ ‘Ku lusooka mu mwezi muweerezanga Omukama ekitambiro ekyoke eky'ente ennume ento bbiri, endiga ennume emu, obuliga obulume musanvu, byonna nga tebiriiko kamogo.
12
Ku buli nte nnume ento muweererezangako ekitone eky'obuwunga eky'ebyekkumi bisatu ebya efa ey'obuwunga obukuŋŋunte obulungi omutabuddwa omuzigo, ku buli ndiga ennume ekitone eky'obuwunga eky'ebyekkumi bibiri ebya efa ey'obuwunga obukuŋŋunte obulungi omutabuddwa omuzigo;
13
ku buli kaliga akalume ekitone eky'obuwunga eky'ekyekkumi kimu ekya efa ey'obuwunga obukuŋŋunte obulungi omutabuddwa omuzigo. Kino kye kitambiro ekyokye, akawoowo akasanyusa, ekitone ekiwongere Omukama n'omuliro.
14
Ku buli nte nnume ento muweererezangako ekitone eky'okuyiwa eky'evviini eweza ekyokubiri ekya yini; ku buli ndiga ennume ekyokusatu ekya yini, ne ku buli kaliga akalume ekyokuna ekya yini. Ekyo kye kinaabanga ekitambiro ekyokye, ekya buli mwezi, ku buli lusooka omwezi omwaka gwonna.
15
Kuweererezebwangako Omukama embuzi ennume ng'ekitambiro olw'ekibi. Kino kyongereza ku kitambiro ekyokye ekya bulijjo wamu n'ekitone kyakyo eky'okuyiwa.
16
“ ‘Mu mwezi ogusooka, ku lunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi, lwe lwa Pasika y'Omukama,
17
ate olw'ekkumi n'ettaano mbaga. Okumala ennaku musanvu emigaati egitazimbulukuse gye ginaaliibwanga.
18
Ku lunaku olusooka kunaabangako olukuŋŋaana olutukuvu; temukolerangako mulimu gwonna muzito.
19
Muweererezangako ekitone ekiwongere Omukama n'omuliro, ekitambiro ekyokye eky'ente ennume ento bbiri, endiga ennume emu, obuliga obulume musanvu, byonna nga tebiriiko kamogo;
20
muweererezangako ekitone eky'obuwunga obukuŋŋunte obulungi omutabuddwa omuzigo: ku buli nte nnume ento ebyekkumi bisatu ebya efa, ku buli ndiga nnume ebyekkumi bibiri ebya efa;
21
ku buli kaliga, ku buli omusanvu, ekyekkumi kimu ekya efa.
22
Muweererezangako embuzi ennume ey'ekitambiro olw'ekibi, eddaabirize ku lwammwe.
23
Kino kyongereza ku kitambiro ekyokye ekya bulijjo eky'oku makya.
24
“ ‘Muweerezanga bwe mutyo buli lunaku okumala ennaku musanvu ekyokulya ekiwonge n'omuliro, akawoowo akasanyusa Omukama. Kino mukiweerezanga okwongereza ku kitambiro ekyokye ekya bulijjo ne ku kitone kyakyo eky'okuyiwa.
25
Ku lunaku olwomusanvu mukolanga olukuŋŋaana olutukuvu; temukolerangako mulimu gwonna muzito.
26
“ ‘Ku lunaku olw'ebibala ebisookera ddala, bwe muweerezanga Omukama ebibala by'eŋŋano esooka, mu Wiiki enkulu, muyitanga olukuŋŋaana olutukuvu; temulukolerangako mulimu gwonna muzito.
27
Muweerezanga ekitambiro ekyokye eky'ente ennume ento bbiri, endiga ennume emu, n'obuliga obulume musanvu obw'omwaka ogumu gumu, akawoowo akasanyusa Omukama.
28
Ku buli nte nnume ento kubeerangako ekitone eky'obuwunga kya byakkumi bisatu ebya efa ey'obuwunga obukuŋŋunte obulungi omutabuddwa muzigo; ku buli ndiga ennume ebyekkumi bibiri ebya efa,
29
ne ku buli kaliga, ku buli omusanvu, ekyekkumi kimu ekya efa.
30
Muweererezangako embuzi ennume ey'ekitambiro olw'ekibi, eddaabirize ku lwammwe.
31
Mubiweerezanga okwongereza ku kitambiro ekya bulijjo ekyokye eky'oku makya n'ekitone kyakyo eky'obuwunga. Ensolo wetegerezanga ne ziba nga teziriiko kamogo.
Luganda Bible
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION The Bible Society of Uganda, 2018.
:
Save Notes