1
“ ‘Ku lunaku olusooka mu mwezi ogwomusanvu mukolanga olukuŋŋaana olutukuvu; temulukolerangako mulimu gwonna muzito. Lunaku lwammwe lwa kufuuwa ŋŋombe.
2
Muweerezanga ekitambiro ekyokye, akawoowo akasanyusa Omukama, eky'ente ennume ento emu, endiga ennume emu, n'obuliga obulume musanvu obw'omwaka ogumu, byonna nga tebiriiko kamogo.
3
Muweererezangako ekitone eky'obuwunga eky'obuwunga obukuŋŋunte obulungi omutabuddwa omuzigo, ku buli nte nnume kugenderako ebyekkumi bisatu ebya efa; ku buli ndiga ennume ebyekkumi bibiri ebya efa,
4
ne ku buli kaliga, ku buli omusanvu, ekyekkumi kimu ekya efa.
5
Muweererezangako embuzi ennume ey'ekitambiro olw'ekibi, eddaabirize ku lwammwe.
6
Mubiweerezanga okwongereza ku bitambiro ebyokye ebya buli mwezi n'ebyo ebya buli lunaku awamu n'ebitone eky'obuwunga n'eky'okuyiwa ng'etteeka bwe ligamba ku byo. Bye bitone ebiwongere Omukama n'omuliro, akawoowo akasanyusa.
7
“ ‘Ku lunaku olw'ekkumi olw'omwezi ogwo ogwomusanvu, mukolanga olukuŋŋaana olutukuvu, era musiibanga; temukolerangako mulimu gwonna.
8
Muweerezanga Omukama akawoowo akasanyusa, ekitambiro ekyokye eky'ente ennume ento emu, endiga ennume emu, n'obuliga obulume musanvu obw'omwaka ogumu, byonna nga tebiriiko kamogo.
9
Muweererezangako obuwunga obukuŋŋunte obulungi omutabuddwa omuzigo ng'ekitone eky'obuwunga: ku buli nte ennume ebyekkumi bisatu ebya efa; ku buli ndiga nnume ebyekkumi bibiri ebya efa,
10
ne ku buli kaliga, ku buli omusanvu, ekyekkumi kimu ekya efa.
11
Muweererezangako embuzi ennume ey'ekitambiro olw'ekibi. Bino byongereza ku kitambiro olw'okuddaabiriza ate ne ku kitambiro ekyokye ekya bulijjo, ko n'ekitone kyakyo eky'obuwunga era n'ekitone kyabyo eky'okuyiwa.
12
“ ‘Era olunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogwomusanvu, mukolanga olukuŋŋaana olutukuvu; temukolerangako mulimu gwonna muzito. Mukuzanga embaga ku lw'Omukama okumala ennaku musanvu.
13
Muweerezanga ekitambiro ekiwonge n'omuliro, akawoowo akasanyusa Omukama, ekitambiro ekyokye eky'ente ennume ento kkumi na ssatu, endiga ennume bbiri, n'obuliga obulume obw'omwaka ogumu kkumi na buna, byonna nga tebiriiko kamogo.
14
Muweererezangako n'obuwunga obukuŋŋunte obulungi omutabuddwa omuzigo ng'ekitone eky'obuwunga: ku buli nte ennume, ku ziri ekkumi n'essatu, ebyekkumi bisatu ebya efa; ku buli ndiga ennume, ku ziri ebbiri, ebyekkumi bibiri ebya efa,
15
ne ku buli kaliga ku buli ekkumi n'obuna, ekyekkumi kimu ekya efa.
16
Oweererezangako embuzi ennume emu ey'ekitambiro olw'ekibi. Bino byongereza ku kitambiro ekyokye ekya bulijjo, ko n'ekitone kyakyo eky'obuwunga era n'ekitone kyakyo eky'okuyiwa.
17
“ ‘Ku lunaku olwokubiri, muweerezanga ente ennume kkumi na bbiri, endiga ennume bbiri, n'obuliga obulume kkumi na buna obw'omwaka ogumu, byonna nga tebiriiko kamogo.
18
Oweererezangako ekitone eky'obuwunga n'eky'okuyiwa, ng'ebipimo bigererwa ku muwendo gw'ebisolo obungi ng'etteeka bwe ligamba.
19
Oweererezangako embuzi ennume emu ey'ekitambiro olw'ekibi ng'oyongereza ku kitambiro ekyokye ekya bulijjo, ko n'ekitone kyakyo eky'obuwunga era n'ekitone kyakyo eky'okuyiwa.
20
“ ‘Ku lunaku olwokusatu muweerezanga ente ennume kkumi n'emu, endiga ennume bbiri, n'obuliga obulume kkumi na buna obw'omwaka ogumu, byonna nga tebiriiko kamogo.
21
Oweererezangako ekitone eky'obuwunga n'eky'okuyiwa, ng'ebipimo bigererwa ku muwendo gw'ebisolo obungi ng'etteeka bwe ligamba.
22
Oweererezangako embuzi ennume emu ey'ekitambiro olw'ekibi ng'oyongereza ku kitambiro ekyokye ekya bulijjo, ko n'ekitone kyakyo eky'obuwunga era n'ekitone kyakyo eky'okuyiwa.
23
“ ‘Ku lunaku olwokuna, muweerezanga ente ennume kkumi, endiga ennume bbiri, n'obuliga obulume kkumi na buna obw'omwaka ogumu, byonna nga tebiriiko kamogo.
24
Oweererezangako ekitone eky'obuwunga n'eky'okuyiwa, ng'ebipimo bigererwa ku muwendo gw'ebisolo obungi ng'etteeka bwe ligamba.
25
Oweererezangako embuzi ennume emu ey'ekitambiro olw'ekibi ng'oyongereza ku kitambiro ekyokye ekya bulijjo, ko n'ekitone kyakyo eky'obuwunga era n'ekitone kyakyo eky'okuyiwa.
26
“ ‘Ku lunaku olwookutaano muweerezanga ente ennume mwenda, endiga ennume bbiri, n'obuliga obulume kkumi na buna obw'omwaka ogumu, byonna nga tebiriiko kamogo.
27
Oweererezangako ekitone eky'obuwunga n'eky'okuyiwa, ng'ebipimo bigererwa ku bungi bw'ensolo ng'etteeka bwe ligamba.
28
Oweererezangako embuzi ennume emu ey'ekitambiro olw'ekibi ng'oyongereza ku kitambiro ekyokye ekya bulijjo, ko n'ekitone kyakyo eky'obuwunga era n'ekitone kyakyo eky'okuyiwa.
29
“ ‘Ku lunaku olwomukaaga muweerezanga ente ennume munaana, endiga ennume bbiri, n'obuliga obulume kkumi na buna obw'omwaka ogumu, byonna nga tebiriiko kamogo.
30
Oweererezangako ekitone eky'obuwunga n'eky'okuyiwa, ng'ebipimo bigererwa ku muwendo gw'ebisolo obungi ng'etteeka bwe ligamba.
31
Oweererezangako embuzi ennume emu ey'ekitambiro olw'ekibi ng'oyongereza ku kitambiro ekyokye ekya bulijjo, ko n'ekitone kyakyo eky'obuwunga era n'ekitone kyakyo eky'okuyiwa.
32
“ ‘Ku lunaku olwomusanvu muweerezanga ente ennume musanvu, endiga ennume bbiri, n'obuliga obulume kkumi na buna obw'omwaka ogumu, byonna nga tebiriiko kamogo.
33
Oweererezangako ekitone eky'obuwunga n'eky'okuyiwa, ng'ebipimo bigererwa ku muwendo gw'ebisolo obungi ng'etteeka bwe ligamba ku bwo.
34
Oweererezangako embuzi ennume emu ey'ekitambiro olw'ekibi ng'oyongereza ku kitambiro ekyokye ekya bulijjo, ko n'ekitone kyakyo eky'obuwunga era n'ekitone kyakyo eky'okuyiwa.
35
“ ‘Ku lunaku olwomunaana mukolanga olukuŋŋaana olw'ekitiibwa; temukolerangako mulimu gwonna muzito.
36
Muweerezanga Omukama ekitambiro ekiwonge n'omuliro, akawoowo akasanyusa, ekitambiro ekyokye eky'ente ennume emu, n'endiga ennume emu, n'obuliga obulume musanvu obw'omwaka ogumu, byonna nga tebiriiko kamogo.
37
Ku buli nte nnume, ku buli ndiga nnume, ne ku buli kaliga akalume, muweererezangako ekitone eky'obuwunga n'ekitone eky'okuyiwa, ng'ebipimo bigererwa ku muwendo gw'ebisolo obungi ng'etteeka bwe ligamba.
38
Oweererezangako embuzi ennume ey'ekitambiro olw'ekibi, ng'oyongereza ku kitambiro ekyokye ekya bulijjo, ko n'ekitone kyakyo eky'obuwunga era n'ekitone kyakyo eky'okuyiwa.
39
“ ‘Ebyo mubiweerezanga Omukama ku mbaga zammwe eziragiddwa, kwe kugamba, ebitambiro byammwe ebyokye, ebitone eby'obuwunga, ebitone eby'okuyiwa, n'ebitambiro eby'okussa ekimu, nga mugatta ku bweyamo bwammwe n'ebitambiro byammwe ebyeyagalire.’ ”
Luganda Bible
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION The Bible Society of Uganda, 2018.