Kyokka Nadabu ne Abihu ne bafiira mu maaso ga Mukama, bwe baaleeta mu maaso ge omuliro gw'atabalagidde, mu ddungu ly'e Sinaayi. Tebaalina baana. Olwo Eleyazaari ne Yitamaari ne baweerezanga mu bwakabona, nga balabirirwa Arooni kitaabwe.
“Nze nzennyini neerobozezza ne ntwala Abaleevi be nzigye mu Bayisirayeli, mu kifo ky'okutwala buli muggulanda mu baana ab'obulenzi ab'Abayisirayeli. Kaakano Abaleevi bafuuse bange,
Musa ne Arooni ne batabani be, be baasiisiranga ebuvanjuba, mu maaso g'Eweema ey'Okusisinkanirangamu Mukama, nga boolekedde enjuba gy'eva. Be baalabiriranga Ekifo Ekitukuvu okutuukiriza ebyalagirwa Abayisirayeli. Omuntu omulala yenna eyasembereranga ekifo ekyo, yabanga wa kuttibwa.
Abaleevi bonna, abasajja n'abaana ab'obulenzi abawezezza omwezi ogumu n'okusingawo, Musa ne Arooni be baabala nga bagoberera ensibuko zaabwe, nga Mukama bwe yalagira, baali emitwalo ebiri mu enkumi bbiri.
Naye mu kifo ky'abaggulanda bonna ab'obulenzi ab'Abayisirayeli, njawulira Abaleevi, babe bange, Nze Mukama. Era njawulira amagana g'Abaleevi gabe gange, mu kifo ky'ensolo zonna ezisooka okuzaalibwa mu magana g'Abayisirayeli.”
Era abaggulanda bonna ab'obulenzi, okuva ku bawezezza omwezi ogumu n'okusingawo, abaawandiikibwa amannya gaabwe ne babalibwa, baali emitwalo ebiri mu enkumi bbiri mu bibiri mu nsavu mu basatu.
“Mu kifo ky'abaggulanda ab'obulenzi ab'Abayisirayeli, yawula Abaleevi babe bange, era yawula amagana gaabwe gabe gange, mu kifo ky'amagana g'Abayisirayeli. Nze Mukama.
Ensimbi ze yasolooza ku baggulanda ab'obulenzi ab'Abayisirayeli, zaawera sekeli lukumi mu bisatu mu nkaaga mu ttaano, ez'ekipimo ekitongole eky'omu Kifo Ekitukuvu.